Bana Uganda nga bajaguza ameefuga ga Uganda.
Bannayuganda abawangaalira mu Bungereza bakuzizza olunaku lw'Ameefuga ga Uganda ag'e 61.
Obwakabaka bwakiikiriddwa Omuk. Frederick Albert Mukungu, omukiise ku lukiiko lw'omubaka we Bungereza ne Ireland, ow'Amawulire n'Okukunga abantu.
Omukolo gwabadde mu bitundu bye Sheffield, nga gwakulembeddwamu okusaba okw'enjawulo, okusabira eggwanga Buganda ne Uganda, Katonda alisseeko obukuumi bwe, n'okulungamya abakulembeze bakole ebitwala eggwanga mu maaso.