donate

Choose Language

Select your language

donate

Abantu ba Kabaka mu Bungereza ne Ireland batandise ebikujjuko by’okukuza amazaalibwa ge ag’e 70

Abantu ba Kabaka mu Bungereza ne Ireland batandise ebikujjuko by’okukuza amazaalibwa ge ag’e 70
Abamu ku beetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’e myaka 70 mu Bungereza

Abamu ku beetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’e myaka 70 mu Bungereza

Abantu ba Ssaabasajja Kabaka abawangalira mu Bungereza ne Ireland batandise ebikujjuko by’okukuza amazaalibwa ge ag’e myaka 70.

Basoose kutandika n’emisinde egyabadde ku Crystal Palace Park, oluvannyuma ne beesanyusaamu wamu mu kwegatta ku bazzukulu ba Buganda abalala.

Enteekateeka eno ekulembeddwamu Omubaka wa Kabaka mu Bungereza ne Ireland, Owek. Geoffrey Kibuuka, yasinzidde mu misinde gino n’akubiriza Bannayuganda okuwagira omulamwa gwa Ssaabasajja ogw’okulwanyisa mukenenya.

Omubaka wa Kabaka mu Bungereza ne Ireland, Owek. Geoffrey Kibuuka, nga asimbula abeetabye mu misinde

Omubaka wa Kabaka mu Bungereza ne Ireland, Owek. Geoffrey Kibuuka, nga asimbula abeetabye mu misinde

Mu bbendobendo lya South West England, emisinde gitegekeddwa wansi w’obukulembeze bwa Mukyala Nabatta Mukiibi.

Abamu ku bantu ba Kabaka abaatambulidde wamu ne Kabaka mu nteekateeka eno kuliko: Omulangira Kateregga n’Omuzaana; Nnaalinnya Nakabiri, Omumbejja Mpologoma, Owek. Ronald Lutaaya, Sheikh Butannaziba Kalantan, n’abalala bangi.

Wano mu Uganda, amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ga kukuzibwa ku Sande nga 13, mu lutikko eya St. Mary’s Lubaga.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK