Ku Lwomukaaga nga 24/02/2024, Owek. Twaha Kigongo Kawaase yasisinkana abakungu n’abaami ba Kabaka mu ssaza lya UK & Ireland ku somero lya Harris Academy, Peckham South London.
Okwaniriza
Mu kumwaniriza, Owek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka – Omubaka wa Kabaka mu UK & Ireland yayanjulidde Katikkiro asooka abakungu n’abaami bonna ababadewo n’amutegezezza nti:
- Wano mu UK ne Ireland olukiiko lwe lweyambisa nnyo amasinzizo ga Banauganda okukunga abantu ba Ssaabasajja abawangalira mu ssaza lino.
- Okusobola okukunga obulungi abantu ba Kabaka, essaza lino lyasalwamu amabendobendo ataano (5); South West England; East London, Anglia & Essex; North London & South Midlands; North England n’erya Scotland era nga buli bbendobendo likulemberwa Omumyuka w’Omubaka.
- Abakungu n’abaami abaweereza mu ssaza lino balina obumanyirivu mu mirimu egy’enjawulo omuli abasawo, ba yinginiya, abasomesa, ababazi b’ebitabo n’abalala.
- Omulamwa gw’olukiiko lw’Omubaka wa Kabaka mu UK & Ireland guli ‘Obumu n’Okwekulakulanya’.
- Abantu ba Ssaabasajja abawangalira wano omulimu gw’okuzaala abaana bagukoze, abaana bano abazalidwa wano bakubirizidwa okusoma, “tugezaako okubayigiriza ebifa ku Buganda era tubalinamu esuubi lya maanyi mu Buganda ey’enyka”.
Omubaka wa Kabaka yebazizza nnyo abakungu n’abaami olw’obuwereeza bwebakola ate nga bwa nnakyewa.
Okwogera kwa Owek. Twaha Kawaase
Mu kwogera kwe, Owek. Twaha Kawaase yebazizza abakungu n’abaami okukkiriza okuwereeza Obwakabaka era n’okujja okumusisinkana mu bungi bwe batyo, yagambye nti kizaamu amaanyi okusisinkana baweereza bane ate nga bali bweru wa Uganda.
Owek. Kawaase yategezezza nti Ssaabasajja Kabaka gyali alamula Obuganda era n’ategeeza nti Katikkiro C P Mayiga n’Owek. Joseph Kawuki - minisita w'Ensonga z'Abantu ba Buganda Ebweru baweerezza obubaka eri olukiiko lw’Omubaka mu UK ne Ireland.
Owek. Kawaase yakubirizza abaweereza ba Kabaka:
- Beyambise emitimbagano okufuba okumanya ebigenda mu maaso mu Bwakabaka bwa Buganda. Yajjukizza nti Obwakabaka bukola Enteekateeka ya Buganda Namatayiika (Strategic Plan) erambika ebirubirirwa bya Buganda buli myaka etaano n’ekigendererwa eky’okuzza Buganda ku Ntikko. Namutayiika egobererwa kati ya biseera okuva mu mwaka gwa 2023 okutuuka mu 2028. Enteekateeka eno yava ku zi pulojekiti nedda ku pulogulamu.
- Abaami ba Kabaka abeetaaga Nnamutayiika, oba okumanya enteekateeka za Buganda basobola okutukirira Owek. Robert W Nsibirwa oba Owek Joseph Kawuuki.
- Okuwandiikanga ebisubirwa okukolebwa buli mwaka (annual work plans) nga byesigamye ku Nteekateeka Nnamutayiika eya Buganda nga bagattamu ebibakwatako mu bitundu gyebawangalira.
- Okumanya oba okujjukiranga Ensonga za Buganda Ssemasonga etaano; Okunyweza n’okukuuma Nnamulondo; Okugabana obuyinza ne gavumenti eya wakati mu nkola eya “Federal”; Okununula ettaka n’ensalo za Buganda yonna gye ziyita; Okukola ennyo n’okwekulaakulanya n’Obumu.
- Okufuba okwetaba mu nkiiko eziba zitegekeddwa wofiisi y’Omubaka, abamyuma abatwala amabbendobendo oba olukiiko lwa Buganda kubanga omwo omuwereeza mwamanyira enteekateeka z’Obwakabaka oba ez’olukiiko kwatuula. Kirungi nnyo nti waliwo tekinologiya atusobozesa okusisinkanira ku mitimbagano naye kisaana okusisinkana mu buntu buli lwekiba kisoboka. Enaku zino olwa tekinologiya, kisoboka okugoberera ebiba biteseebwa mu lukiiko e Mengo ku mutimbagano.
Owek. Kawaase yategezeza nti emisinde gy’okukuza amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka e 69 gyakubeerawo nga 07/04/2024. Sente ezinaava mu misinde gino zijja kuddukirira mu kawefube w’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya. Emu ku ngeri abantu ba Kabaka abawangalira ebweru wa Uganda gyebasobola okuwagiramu emisinde gino kwe kuwa oba okuwola abantu babwe e Uganda sente ne basuubula okusaati obudukirwamu emisinde.
Owek. Kawaase yeebazizza essaza lino erya UK & Ireland olw’okubeera abasaale mu kuwereeza ‘Oluwalo Lwaffe’ olw’omwaka guno n’agamba nti Oluwalo ge gamu ku makubo agayitibwamu okuyimirizaawo Obwakabaka kubanga tebusolooza misolo.
Olw’okukendeeza ebbula ly’amazzi mu bitundu bya Buganda ebikalu, Obwakabaka bwatandikawo pulojekiti eyitibwa ‘Oluzzi’. Mu nkola eno, Obwakabaka buzimba nayikondo (borehole) mu bitundu awali obwetaavu. Obwakabaka bukubiriza buli ssaza lya Buganda ebweru okusondayo nayikondo emu ku $6000 (£4750).
Yakubirizza abaweereza okutegeera n’okutegeeza abantu ku ‘One Million Project’ – enteekateeka eneesobozesa abantu ba Kabaka abawangaalira ebweru okusigira awamu ensimbi mu mawanga gye bawangaalira n’ekigendererwa eky’okwekulaakulanyiza awamu, okunyweza obumu, n’okusaasaanya ekitiibwa kya Buganda.
Omumyuka wa Katikkiro asooka yategezeza nti nga 14 Mutunda 2024, wajja kubeerawo Ttabamiruka wa Buganda e Bulaaya (Buganda Convention – Europe) anaasokera ddala, ono agenda kubeera Germany ate enkeera nga 15 Mutunda 2024, wajja kubeerawo omukolo gw’okutuuza olukiiko lw’Omubaka wa Kabaka mu UK ne Ireland.
Olusisinkana luno lwakomekeredde n’ebibuuzo okuva mu bawereeza nga bidibwamu Owek. Kawaase. Ebibuuzo byetololedde ku nsonga ez’enjawulo ezisomooza Obuganda omuli: okuvoola Obwakabaka n’abawereeza babwo; ebikwata ku mikolo gy’okwanjula; baasale za Kabaka Education Fund; eby’ettaka; eby’okusiga ensimb; olulimi Oluganda; eby’obulamu; eby’obuddu mu nsi za Buwarabu n’ebilala.
Olutambi lw’olusisinkana luno mu bujjuvu lujja kuwanikibwa ku mukutu gwa youtube ya bugandauk.
G W Kalanzi (Muwandiisi wa Lukiiko lwa Mubaka wa Kabaka mu UK & Ireland)