Oweek Katikkiro ne Mwami John Musinguzi ne bane beyazenabookuva mu URA
Ekitongole ekiwooza ky'omusolo ki Uganda Revenue Authority (URA) kisambazze engambo ezibadde ziyitingana nti baakuggya omusolo ku Luwalo oluleetebwa embuga.
Mu nsisinkano gyabaddemu ne Katikkiro Charles Peter Mayiga, Ssenkulu wa uganda Revenue Authority John Musinguzi agambye nti tebalina nteekateeka yonna ya kujja musolo ku birabo ebireetebwa embuga era ssi kituufu.
Musinguzi akiise e mbuga mu Bulange Mmengo, n’annyonyola nti oluwalo n’ebirabo bya Kabaka tebiri ku mitendera gy’ebintu ebisatu egiwoozebwako omusolo mu ggwanga Uganda.
Emitendera egiwoozebwako omusolo mu Uganda kuliko, Omusaala gw’abakozi Pay as You Earn, Eby’obusuubuzi oba kiyite Business n’omusolo oguwoozebwa ku bizimbe ogumanyiddwa nga Property Tax.
Musinguzi yeebazizza Katikkiro bulijjo okukozesa eddoboozi lye okubayambako okukunga banna Uganda okuwa omusolo kyagambye nti kibayambye nnyo mu mirimu gyabwe.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ku lulwe, yeebazizza aba URA olw’okukolagana obulungi ne Buganda nga bano kati banywanyi bamukago ne Ekisaakaate kya Nnaabagereka, Ekitongole kya Buganda eky’Ebyobulambuzi, Buganda Heritage and Tourism Board ne CBS PEWOSA.
Mu nsisinkano eno, aba URA baguze ne Certificate ya nsimbi obukadde butaano ng’oluwalo lwabwe olugguddewo omwaka guno 2024. Era nga bateeseza nekunsonda endala nyingi ezenkulakulana.
Ensisinkano eno yeetabyemu Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Minisiter w’amawulire Owek Israel Kazibwe Kitooke, Omuk. Roland Ssebuufu Ssenkulu wa BICUL n’abalala abawerekedde ku Ssenkulu wa URA.