Abadde wamu n'abakugu mu nsonga z'ebifo eby'obuwangwa mu nsi yonna, wamu n'ab'ekitongole ky'ebyobulambuzi mu ggwanga.
Balambudde ennyumba Muzibwazaalampanga, ebyuma ebizikiriza omuliro n'enkozesa yabyo, ensulo z'amazzi, balambudde bbugwe w'amasiro, era boogeddeko n'abatuuze ku nsonga ezikwata ku Masiro.
Lazare Eloundou Assomo, agambye nti bweyakyalako mu Masiro nga gamaze okukwata omuliro, emyaka 10 emabega, yalaba okunyolwa mu bantu ba Buganda, baafuna ekikangabwa, n'emitima gyabennyika.
Wabula ategeezezza nti musanyufu nnyo olwa kaweefube akoleddwa okuzzaawo Muzibwazaalampanga okusobola okukuuma ba Ssekabaka abaaterekebwa mu nnyumba eno.
Agamba nti okuzzaawo amasiro gano kukomyezzaawo essuubi mu bantu ba Buganda, wamu n'ekitiibwa ky'eggwanga kubanga waliwo obwetaavu okukuuma ebifo nga bino eby'ennono.
Asanyukidde eky'okussaawo olujegere wakati wabantu abakulu abakola omulimu gwokuzzaawo Muzibwazaalampanga nebateekamu abavubuka abato, kino kyongera okukakasa nti ebiseera ebirijja mu maaso walibaawo abalisobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno.
Ye Minisita w’Obuwangwa, Ennono, n'Obulambuzi, mu bubaka bwatisse Oweek Henry Sekabembe Kiberu, ategeezezza nti, omugenyi alabye nga ennono n'obuwangwa bigobereddwa bulungi awatali mutendera gwonna gubuukiddwa, kino kyongera okunywereza amasiro ku lukalala lw'ebifo eby'enkizo ku ddaala ly'ensi yonna wansi wa UNESCO.
Eno yeemu ku nteekateeka eya kaweefube wokujja amasiro gano ku lukalala lw'ebifo eby'obulambuzi ebiriri mu katyabaga.
Ebinaava mu kulambula kuno byakufulumizibwa mu mwezi gwa September, nga akakiiko ak'okuntikko mu UNESCO kamaze okwekenneenya alipoota enaakaweebwa.