Soliz Marketing and Advertising Company Limited wamu n’abakwatibwako batongozza enteekateeka eyitibwa ‘Uganda Tourism Forum’ okwongera okutumbula eby’obulambuzi n’okubimanyisa ensi n’okubyagazisa abavubuka.
Kulwa kampuni ya Soliz Marketing and Advertising Ltd., Omw. Charles Kasumba ategeezezza nti ekirubirirwa kyabwe kwekutumbula eby’obulambuzi bye ggwanga mu nsi yonna. Yasabye buli Munnayuganda okukimanya nti ensonga eno emukwatako era n’abayita okugyenyigiramu.
Kasumba yasabye Gavumenti eyawakati okutekawo embeera ennungi esobozesa okutambuza obulungi emirimu gyabwe. Yalambise nti eby’okwerinda binywezebwe, eby’obuwangwa bitumbulwe, era bannayuganda kibasobozesa okweyogela okwagala eby’obulambuzi.
Omw. Lule Geofrey Ssemwanga, akiikiridde Buganda Heritage and Tourism Board (BHTB), yagambye nti okutumbula eby’obulambuzi mu Bwakabaka kulina okutandika n’okunnyikiza abantu mu kunyuma nakutegeera emboozi ez’edda okusobola okwagazisa emijiji emito kubanga ezisinga ku zino zirina akakwate ku bifo by’obulambuzi.
Lule yannyonnyodde nti Obwakabaka bukolebwa bantu, era bwe butambulira ku mulamwa gw’obumu, kibeera kyangu okugatta ettoffaali ku nkulaakulana y’eby’obulambuzi.
Kitegeerekese nti enteekateeka eno ejja kuyamba okutereeza ebisoomooza eby’obulambuzi, okuli okufuna akatale mu mawanga ag’omuliraano nga Rwanda, Kenya, ne Tanzania, okumanyisa ensi ku bifo ebyenjawulo era n’okuteekateeka ebifo eby’obulambuzi bituukane n’omutindo.
Omukolo guno gwetabidwako abakungu ab’enjawulo, okusingira ddala abali mu kisaawe ky’eby’obulambuzi, okuli bakamisoona by’obulambuzi, abakungu b’Obwakabaka, abalambuzi, n’abantu abalala.