
Katikkiro ng’ayogerako eri Abaami.
Obwakabaka bwa Buganda butegese ttabamiruka w’Abasajja omulundi ogw’okubiri, atambuliziddwa ku mulamwa “Okunyweza ekifo ky’omusajja mu maka ku lw’enkulaakulana eyannamaddala” ng’ayindidde mu luggya lwa Bulange e Mmengo.
Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga, bw’abadde aggulawo ttabamiruka ono, atabukidde Abaami abasuddewo obuvunaanyizibwa bw’okulabirira amaka gaabwe, baagambye nti be baviiriddeko n’eggwanga okuziŋŋama mu by’enkulaakulana.
“Amaka okubeera ag’ekitiibwa kitandikira ku ngeri omusajja gy’akwatamu ensonga z’amaka ago, era n’ensi okukulaakulana obulungi eteekwa okubaamu amaka amatebenkevu,” Owek. Mayiga.
Kamalabyona agamba nti abaami bangi bazze mu kwebuzaabuza bwe kituuka ku nsonga z’amaka gaabwe, abalala okwefuula abakwatiddwa emirimu emingi, abalala nti nkolera wala. Nti bino bivuddeko abasajja okusuulawo obuvunaanyizibwa bwabwe ng’Abaami era nga ba Taata mu maka. Kino ategeezezza nti kiviiriddeko abaana okufuuka ekitagasa olw’okubulwako alunŋŋamya.
Owek. Mayiga asinzidde wano n’akubiriza abasajja okukomya obugayaavu n’okwekwasa bino na biri, baddemu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe, bafeeyo ku kitiibwa ky’amaka gaabwe, abaana babawe obudde okwogerako nabo n’okubaluŋŋamya, era bafeeyo okuzimba eggwanga ery’enkya anti mu balenzi mwe muva abasajja.
Omugenyi ow’enjawulo ku mukolo guno abadde Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko Olukulu olw’eggwanga Rt. Hon. Thomas Tayebwa. Ono obubaka bwe abutisse Ssaabawolereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka, era mu bbwo asabye Abaami okukuuma emirembe ng’akikaatiriza nti amaka agatebenkedde obulungi gayambako nnyo ensi okukulaakulana. Ono yebazizza Obwakabaka olw’enteekateeka ya ttabamiruka w’Abasajja gy’agambye nti ejja kuyamba nnyo okuzuukusa Abaami ku buvunaanyizibwa bwabwe.

Owek. Katikkiro n’abagenyi ab’enjawulo mu kifananyi ekyawamu.
Tayebwa naye avumiridde eky’abasajja okusuulawo obuvunaanyizibwa bwabwe ne balemererwa okuwa abaana ebyenjigiriza n’eby’obulamu ebirungi, ate nga bino y’ensibuko y’enkulaakulana. Akubirizza buli musajja okufaayo okubaawo mu maka ne bulamu bw’abaana, okuwagira bakyala baabwe, okubeera eky’okulabirako n’okusaba obuyambi we kyetaagisizza okusinga okusirika oba okudduka mu maka.
Ye Hon. Kiryowa Kiwanuka, ku lulwe, asabye Abaami okusiga ekifaananyi ekirungi mu maka, era yesigamye ku lugero okugamba nti “Ky’osiga ky’okungula.” Ategeezezza nti Taata aliko ebintu mukaaga by’awa omwana we okuli: endabika, empisa, ebyenjigiriza, essaala, eby’obulamu n’enkulaakulana nga okubayigiriza emirimu n’ebirala. Bino akubirizza Abaami bonna okubiteekako essira.
Minisita w’Ekikula ky’Abantu mu Buganda, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, mu bubaka bwe agambye nti Abaami basaanidde okuddamu okumanya obukulu bw’ekifo kyabwe mu maka, kiyambeko mu kugunjula eggwanga ery’enkya. Ng’eno y’ensibuko eyabalondesezza omulamwa okuteeka essira ku kifaananyi ky’omusajja mu maka. Yebazizza bonna ababakwatiddeko okuggusa enteekateeka zonna eza ttabamiruka w’omwaka guno.
Omwami w’Essaza Kyaddondo, ttabamiruka ono mwayindidde, Kaggo Hajj. Ahmed Magandaazi Matovu ategeezezza nti enkuza y’omwana omulenzi esaanye okuddamu okussibwako essira nga bwe kikolebwa ku mwana omuwala, olwo n’abalenzi baveemu abasajja abatuukiridde abagatta ku nkulaakulana y’eggwanga n’amaka amatebenkevu.
Ttabamiruka ono abaddemu abasomesa ab’enjawulo abawadde Abaami emisomo ku miramwa egiwerako. Rev. Neithan Balirwana Mugalu, omukugu mu kuluŋŋamya ensonga z’Abaami, ategeezezza nti ensangi zino abaana ab’obuwala bafunira embuto ku mpya z’abazadde baabwe, ate n’abaana abalenzi bangi bazaala nga tebanaba kweteekateeka. Nti bino byonna bivudde ku bulagajjavu bw’abasajja mu maka, bw’agambye nti bwetaaga okunogera eddagala amangu ddala.
Akubirizza abazadde okufaayo ennyo n’ekunkuza y’abaana abalenzi nga bwe kikolebwa ku bawala, kubanga ate abalenzi abatali bagunjule bulungi be bafunisa abawala embuto wamu n’abasajja abakulu bakaggwensonyi.
Pookino Jude Muleke, naye abadde omu ku basomesa, akubirizza abasajja okuddamu okulwanirira ekitiibwa kyabwe mu ngeri entuufu. Ono agamba nti abasajja tebasobola kufuna kitiibwa nga bakola ebyo ebireetera abaana oba bakyala baabwe okubatya, wabula balina kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka olwo ekitiibwa eky’Obwassemaka kibaweebwe nga bagwanidde.
Abamu ku baami abeetabye mu ttabamiruka ono beebazizza nnyo Obwakabaka olw’enteekateeka eno gye bagambye nti yakuyambako mu kutebenkeza amaka. Era basiimye emisomo egibawereddwa ne basuubiza okuteeka mu nkola ebyo ebibasomeseddwa.
Ttabamiruka ono yetabiddwamu Abataka Abakulu ab’Obusolya, Abaami ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Baminisita, Abaami b’Amasaza, Bassenkulu b’ebitongole n’abalala. Mubaddemu abasajja, abakyala n’abaana, bonna nga basaka amagezi ku misomo egibaweereddwa.