
Abakyala nga balambula ebifo eby’enjawulo mu Sweden
Abakyala ba Buganda abaagenda e Sweden okwetaba mu Ttabamiruka w’Abakyala n’Abaana olwaleero beewummuzaamu nga batambulira ku lyato Silja Symphony okuva e Sweden okutuuka mu kibuga Helsinki e Finland.
Okwewummuzaamu kuno kuteebenkereza ebirowoozo era ne kunyweza amaka, naddala mu baagalana. Kino kyeggyayo bulungi amakulu g’omulamwa gw’ettabamiruka ono ogwabadde: “Amaka amalungi n’enkolagana bya nkizo mu nkulaakulana.”
Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja, Minisita w’Ekikula ky’Abantu mu Bwakabaka, ye y'akulembedde abakyala bano. Yabadde ayambibwako Olukiiko oluteesiteesi olukulemberwa Omubaka wa Kabaka ow’e Ssaza Scandinavia, Oweek. Nelson Mugenyi, wamu n’Abaami n’Abakungu ba Kabaka abawangaalira mu bitundu ebyo.