Abakyala mu ki fananyi ekyawamu n'oweek Mariam Mayanja Nkalubo abatwala
Minisita wa bulungi bwansi, Obutonde Bw'ensi n'Ekikula Ky'abantu, Oweek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, atongozza enteekateeka za Ttabamiluka w'Abakyala mu Buganda owomwaka 2024 ng'ono wakubeerawo nga 15/5/2024 mu Lubiri e Mmengo.
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda yagenda okuggulawo Ttabamiluka ono era nga wakwetabwamu abakyala okuva mu masaza gonna aga Buganda.
Emiramwa egissiddwako essira omwaka guno kuliko, eby'ensimbi abakyala zebasobola okufuna okuva mu Gavumenti (grants), okusomesebwa ku misolo, enkola eya Yinsuwa, enkuza yomwana omulenzi, ennyingiza mu maka ssaako n'ensonga endala Nnyingi.
Oweek Nkalubo nga ayogerako eri abakyala
Oweek Nkalubo ategeezezza nga Ttabamiruka ono bwagenda okwetabwamu abakugu mu by'obulamu, eby'enfuna amateeka aba Yinsuwa n'abalala, olw'obukulu bw'ensonga zebagenda okwogerako, y'ensonga lwaki kaadi za Ttabamiruka ono zikugula shs emitwalo ena (40,000).
"Omulundi guno twagala okuteeka omuwendo ku ttabamiruka ono omuntu ajje ngalina kyasuubira okubaako kyayiga".
Minisita era akunze bannamikago omuli ebibiina by'abakyala nabalala okwetaba mu nteekateeka za Ttabamiruka.
Ssentebe wa Ttabamiruka Dr Sarah Nkonge Muwonge, akunze abakyala okugula kaadi zino nokwetaba mu Ttabamiruka w'omwaka guno okusobola okubaako byebayiga nokutumbula embeera zaabwe, wamu nokumanya engeri obuwangwa gyebusobola okukozesebwa okutumbula eddembe ly'abakyala.
Ensisinkano eno ebadde mu Bulange e Mmengo, yetabiddwamu abakungu abenjawulo okuli oweek Robina Magezi,Omukungu Agnes Nabulya Nkugwa, omukungu Agnes Kimbugwe, n'abakulembeze b'abakyala mu Masaza.