Abakyala nga bali mu Ttabamiruka w'abakyala
Ttabamiruka w'Abakyala ba Buganda mu Scandinavia. Abakyala babanguddwa mu ntambuza y'Amaka n'emirimu egy'emikono.
Okubangula kuno kukoleddwa Ssentebe wa Ttabamiruka w'Abakyala mu Buganda,
Dr. Sarah Nkonge Muwonge mu kibuga Stockholm ekya Sweden.
Dr. Sarah Nkonge awadde abakyala omusomo ku Maka amalungi, obulamu bw'Omukyaala, okuteekateeka Abakyala nebafuna obukugu mu mirimu egyenjawulo.
Omusomo gukulembeddwa alipoota ya "Pilot project" ey'Essaza Scandinavia eyaweereddwa Muky. Janet Magato owa AfriSwed abakolagana n'Essaza okuyamba abalimi okulima omuwemba.
Bano bayambako omulimi okufuna wa limira, naweebwa ensigo, naatendekebwa, era nebafuna okulaba nga omulimi oyo azzaayo ensimbi zebaamuteekamu nga amaze okufuna amakungula.
Omusomo nga gugenda mu maaso
Ekigendererwa mu polojekiti eno kwekusitula embeera z'abantu, n'okunyweza enkolagana y'Abakyaala mu Ssaza Scandinavia n'Abakyaala ba Ttabamiruka wamu nokulaba engeri y'okwenyigira mu bikolebwa abakyala mu Masaza.
Omusomo gwakubiriziddwa muky. Beatrice Kiwanuka atwaala ekitongole ky'Abakyaala n'abaana mu Ssaza Scandinavia.
Oluvannyuma lw'omusomo gwa ttabamiruka, wabaddewo okusiima abaweereza abaawummula okuli; Omuk. Rose Ntongo Mayanja ne Olivia Nankya olw'obuweereza bwabwe eri abantu ba Scandinavia n'Obuganda.
Oweek. Nelson Mugenyi atwala Essaza Scandinavia, mukwogera kwe yeebazizza nnyo abaweereza abo okwewayo okuweereza nga tebeebalirira, okwagala Obuganda wamu n'Okubeera abawulize eri Ssaabasajja Kabaka. Bawereddwa ebbaluwa ezibeebaza wamu n'ejjinja.
Basinzidde mu nsisinkana eno nebakuza olunaku lwa "Buganda Day" mu Scandinavia olukuzibwa buli mwaka.