
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, ajja okusisinkana abantu ba Kabaka ababeera mu mawanga ga Buwarabu mu “Ttabamiruka wa Buganda mu Buwarabu” ogugenda okubeera ku Sheraton Dubai Creek – Deira okuva nga 12 okutuuka nga 14 Mutunda 2025.
Omulamwa gw’omukolo guli ku “Okuyiga ku mawanga nga tulubirira enkulakulana.” Omugenyi omukulu w’omukolo ye Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga.