
Hon. Robert Serwanga (center) launching the 2025 Buganda Masaza Cup tickets.
Ssingo ne Buweekula ge masaza agaatuuse ku luzannya olw’akamalirizo olw’empaka z’omupiira gw’Amasaza 2025. Ssingo okuyitawo yakubye Bugerere ggoolo 2–1 omugatte mu nzannya zombi ez’omutendera oguddirira ogw’akamalirizo, ate Buweekula yaggyeko Kyaggwe mu bunnya ggoolo 4–3 oluvannyuma lw’okulemagana 1–1 mu mupiira gyombi omugatte.
Bugerere ne Kyaggwe bajja kulwanira ekifo eky’okusatu nga 1/11/2025 mu kisaawe e Nakivubo, ate ku fayinolo Ssingo ne Buweekula balwanira ekikopo kya nnantamegwa w’omwaka guno. Essaza Buweekula likiika omulundi gwalyo ogw’okuna ku luzannya olw’akamalirizo, kyokka nga tewangulangako kikopo kino; so nga Ssingo yakatuuka ku fayinolo emirundi ena n’ewangula ekikopo emirundi ebiri.
Mu kuluŋŋamya engula ya ticket eri abo abanalaba omupiira ogwo obutereevu mu kisaawe e Nakivubo, Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Robert Serwanga amenye ebifo omutundibwa ticket, nga asabye buli ayagala okubeera ku kisaawe e Nakivubo okugula ticket mu kifo ekimenyedwa kyokka ate mu budde.
Mu bifo ebimenyeddwa omutundibwa ticket kwe kuli Unique Garments e Kyaggwe, ku geeti ya Bulange e Mmengo, Buildmax Hardware, ne Nsanja Agro Chemicals mu Kampala. Abe Bugerere, Buweekula ne Ssingo ticket zitundibwa ku ssaza.
Ku miwendo gya ticket zino, Minisita Serwanga alaze nti ku mitwalo 30,000 munnayuganda afuna ticket eyabulijjo, VIP ya 50,000, ate VVIP ya 150,000. Naye akubidde abawagizi b’omupiira omulanga okugula ticket mu bifo ebyo byokka ebiragidwa, kuba waze walabikawo okucupula kwa ticket; so nga ku luno, omuntu yenna anakwatibwa ne ticket encupule ajja kukwatibwa abatuuse ku bakozi baazo.
Mu ngeri y’emu, Minisita Serwanga anyonyodde nti waliwo abo abasubula ticket zino n’ebazongeza ebbeyi mu nnaku ezisembayo, era abasabye abawagizi b’omupiira okwetekateeka nga bukyali kuba nabo ticket bazitadde ku katale nga bukyali.
Minisita Serwanga ajjukiza abo abatakwata biseera bya kugula ticket nga balinda okuzigula ku mulyango nti kuluno tewali ticket zijjakutundibwa ku miryango, kale bakwate ebiseera.