
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’abuza ku Managing Director wa EACOP, Guillaume Dulout e Bulange, Mengo
Obwakabaka bwa Buganda enkya ya leero bukyazizza abakulembeze b’ekitongole kya East African Crude Oil Pipeline (EACOP) ababadde bajja okwanjula enteekateeka y’okutambuza omudumu gw’amafuta okuva e Bunyoro okutuuka e Tanzania.
Ensisinkano eno etunulidde engeri omudumu guno gye gunaakolwamu nga tegukosa buwangwa, butondebwansi, era n’obulamu bw’abantu abawangaalira mu bitundu omudumu guno gye gunaayitamu.
"Obwakabaka buwagira omulimu gw'okusima amafuta n'okuzimba omudumu ogugatambuza, kyokka ssente ezivaamu zirina okugasa abantu obutereevu mu byenjigiriza, ebyobulamu n'enkulaakulana ng'enguudo okutumbula obusuubuzi n'amakolero. Enteekateeka zino era tezirina kukosa butondebwansi," bw’agambye Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Katikkiro Mayiga asisinkanye abakulu b’ekitongole kya EACOP ne bamwanjulira enteekateeka y’okuzimba omudumu gw’amafuta okuva e Hoima okutuuka e Tanga mu Tanzania. Asabye nti ensimbi eziva mu mafuta ziganyule bannansi mu bintu ebikulu eby’enjigiriza, ebyobulamu, n’enfuna y’eggwanga.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri, era Katikkiro yategeezezza nti amafuta kye ky'obugagga, naye ssente ezivaamu zirina okukozesebwa mu ngeri egasa abantu abawansi.
“Amafuta kya bugagga, era eky’obugagga bw’obeera nakyo olina okukyeyambisa okukola ku byetaago byo naye ekikulu kye tulina okutunuulira ze ssente eziva mu mafuta zikozesebwa biki?” bw’ategeezezza Katikkiro Mayiga.
Owek. Mayiga yategeezezza nti Obwakabaka buwagira omulimu gw’okusima amafuta n’okugatambuza okutuuka ku katale, kyokka byonna ebikolebwa birina okukolebwa nga biyamba abantu n’obutakosa butondebwansi.
Yagasseeko nti amawanga mangi agakyakula bwe gafuna ensimbi nga ez’amafuta, gazizza mu kwejalabya ate abantu baago ne basigala mu bwavu obuyitirivu. Bwasabye ensimbi eziva mu mafuta zitunuulirwe ku nsonga ng’okukuuma obutondebwansi, okuwagira ebyobulimi n’obulunzi, ebyenjigiriza, n’okukola enguudo ennungi okusitula eby’obusuubuzi.

Katikkiro ne Maneja Dayirekita wa EACOP, Guillaume Dulout, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Maneja wa BICUL Omuk. Roland Ssebuufu, n’abakungu abalala e Bulange
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, yategeezezza nti enteekateeka eno erina okuvaamu n’enkulaakulana egasa abantu n’eggwanga. Yagambye nti obulamu bw’abantu bwe busooka era enteekateeka ng’eno esobola okukulaakulanya eby’obulamu, ebyenjigiriza n’ebintu ebirala eby’omugaso.
Abagenyi b’Embuga nga bakulembeddwamu Ssenkulu w’ekitongole kya EACOP, Omw. Guillaume Dulout, baategeezezza nti omulimu gw’okuzimba omudumu gw’amafuta gubeetaagisa okuwuliziganya n’abantu bonna abakwataako. Yagambye nti balina enteekateeka y’okuliyirira abantu abayinza okukosebwa omudumu guno, okuwa abavubuka emirimu, n’okutambuza amazzi amayonjo n’amasanyalaze g’enjuba.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Minisita w’Amawulire mu Bwakabaka Israel Kazibwe Kitooke, Ssenkulu wa BICUL Omuk. Roland Ssebuufu, awamu n’abakungu abalala.