donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Ssenkulu omuggya owa BUCADEF ayanjuliddwa eri Katikkiro, amusabye okwongera okunnyikiza kaweefube mu kulima emmwanyi

Ssenkulu omuggya owa BUCADEF ayanjuliddwa eri Katikkiro, amusabye okwongera okunnyikiza kaweefube mu kulima emmwanyi
Omuk. Alfred Bakyusa asisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga nga Ssenkulu omuggya owa BUCADE

Omuk. Alfred Bakyusa asisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga nga Ssenkulu omuggya owa BUCADE

Katikkiro Charles Peter Mayiga ayanjuliddwa Omuk. Alfred Bakyusa, Ssenkulu omuggya owa BUCADEF, ekitongole ky'Obwakabaka ekivunaanyizibwa ku byobulimi.

Katikkiro ono amukubirizza okussa essira ku miramwa ebiri; obulimi bw'emmwanyi n'okugoba obwavu. Wano amusabye okwongera okunnyikiza kaweefube w'okukubiriza abakyala n'abavubuka okweyongera okulima emmwanyi, abalimi b'emmwanyi okuzigattako omutindo, n'okujjumbira ebibiina by'obweggasi.

Owoomumbuga ono amusibiridde entanda ya kutambulira ku nnyingo z'omulembe omuggya omuli: Obuyiiya, Obwerufu, Obunyiikivu, n'Okukola n'okwagala. Ng'ategeezezza nti singa bino abinyweza, obuweereza bujja kumwanguyira era n'ekitongole kyongere okukula.

Minisita Hajj Amisi Kakomo y'ayanjudde Ssenkulu ono eri Kamalabyonna.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK