Ssabasajja nga awubira ku bantube
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalambula omwalo gwe Katosi mu ssaza Kyaggwe. Maasomooji alambudde ne ku bantu abakolera ku mwalo guno, era nga babadde tebamusuubira kubeera mu kitundu ekyo.
Ssabasajja akyagenda mumaaso nokulambula abantube nga talaze nadala abawangalira ku myalo egyejawulo era nga yasokera mulungo wiiki 2 eziyise mu gombolola ye Makindye. kati yagenze Katosi musaza ly’ekyagwe.
Abantu be basanyusenyo okumulabako maaso ku maaso nga teri abaziyiza eranaye yabadde musanyufu nnyo okulaba ku bantube mu mbeera zaabwe zabwe ezabuligyo.
Bamulambuza n’okumutegeeza ku mirimu egyenja wulo egikolebwa ku mwalo gunno.
Mu kulambula abantube abawangaalira ku mwalo gwe Katosi basanze nga bakakalabya emirimu egyenjawulo era asinzidde wonno nabakubirizza okukola ennyo begye mu nvuba y'obwavu.
Ssabasajja nga alambula Omwalo gwe Katosi
Alambudde abavubi, abasuubuzi b’ebyamaguzi ebyenjawulo omuli n’abatunzi bébyenyanja bonna nga babugaanye essanyu.