donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Ssabasajja asiimye Kabaka Foundation ku nteekateeka ya 'Tubeere Balamu'

Ssabasajja asiimye Kabaka Foundation ku nteekateeka ya 'Tubeere Balamu'
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng'awa obubaka bye ku mukolo guno

Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng'awa obubaka bye ku mukolo guno

Ssaabasajja Kabaka yebazizza ekitongole kye ekya Kabaka Foundation olw'enteekateeka ya Tubeere Balamu, gy’agambye nti ekoze bulungi nnyo okutumbula ebyobulamu by’abantu be nga batuusibwako obujjanjabi mu bitundu gye babeera.

Ajjukizza nga enteekateeka eno bwe yatandikira e Buddu ku mbuga ya Pookino ku ntandikwa ya Museenene w'omwaka oguwedde. Abantu baali bangi nnyo abajjumbira olusiisira olwo, era tewali kubuusabuusa nti bangi baaganyulwa.

Ku mulundi guno, olusiisira lukubiddwa mu Ggombolola Ssaabagabo Nsangi, okuliraana ekibuga, wetumanyi nti waliwo obwetaavu bungi mu by'obujjanjabi.

Abantu bangi bakunganye okwetaba mu mukolo guno, nga balaga obuwagizi obw’amaanyi obw’abantu b’omukitundu eri enteekateeka ya ‘Tubeere Balamu’

Abantu bangi bakunganye okwetaba mu mukolo guno, nga balaga obuwagizi obw’amaanyi obw’abantu b’omukitundu eri enteekateeka ya ‘Tubeere Balamu’

Bannaddiini ne bannamikago beebaziddwa

Omutanda yebazizza nnyo Ssaabasumba Paul Ssemogerere ne Msg. Lawrence Kanyike, Bwanamukulu wa St. Joseph’s Parish Kyengera, olw'okwenyigira obutereevu mu nteekateeka eno n'okuwayo ekifo awajjanjabiddwa abantu be.

Mu ngeri ey’enjawulo, Ssaabasajja yeebazizza Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi, Rt. Rev. Moses Banja, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi ne bannaddiini bonna olw’okuwagira enteekateeka za Kabaka Foundation mu kaweefube w'okukyusa obulamu bw’abantu be.

Era yebazizza Ababiikira be Bwanda, naddala Nnankulu, olw'obuyambi obuweereddwayo mu by'eddagala n'obusawo.

Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi ne Ssaabalabirizi Paul Ssemogerere nga batudde wamu mu mukolo guno, nga balaga obumu nga bawagira enteekateeka ya Kabaka Foundation eya ‘Tubeere Balamu’

Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi ne Ssaabalabirizi Paul Ssemogerere nga batudde wamu mu mukolo guno, nga balaga obumu nga bawagira enteekateeka ya Kabaka Foundation eya ‘Tubeere Balamu’

Bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo be bakulembeddemu enteekateeka eno, okuli:

  • Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere,
  • Omulabirizi we Namirembe Moses Banja,
  • Super Supreme Mufti Sheikh Shaban Galabuzi,
  • Fr. John Bbosa Kibuuka kulw'enzikiriza y'Abasodokisi.

Bano basabye Gavumenti okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo okulabirira abantu baayo nga balamu bulungi, nga ezimba amalwaliro mu bitundu ebibeetoolodde, wamu n’okukendeeza ku nsimbi ezigula ebintu ebikozesebwa mu by'obulamu.

Abamu ku baabaddewo nga bakeberebwa abasawo mu kaweefube w’ebyobulamu eya ‘Tubeere Balamu’.

Abamu ku baabaddewo nga bakeberebwa abasawo mu kaweefube w’ebyobulamu eya ‘Tubeere Balamu’.

Minisita w'ebyobulamu ayogedde

Minisita w’Enkulaakulana y'Abantu era avunaanyizibwa ku by'obulamu, Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, ategeezeza nti kaweefube w’okuwa abantu obujjanjabi asimbye mu buufu bw’ensonga ssemasonga ey’okuna, eraga okukola obutaweera okusinziira ku kusitula omutindo gw’embeera z’abantu mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.

Yebazizza Kabaka Foundation okulima olubimbi luno okulaba nti abantu ba Beene bafuna obujjanjabi okutereeza obulamu bwabwe.

Asabye abantu balye bulungi, beegemese endwadde, bakole dduyiro okusobola okwekuuma nga balamu.

Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ayogerera mu lukung’aana luno, n’akubira Kabaka Foundation mu ngalo mu kaweefube w’ebyobulamu n’okukubiriza abantu okwettanira obulamu obulungi

Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ayogerera mu lukung’aana luno, n’akubira Kabaka Foundation mu ngalo mu kaweefube w’ebyobulamu n’okukubiriza abantu okwettanira obulamu obulungi

Omulanga eri abantu

Olusiisira lw’ebyobulamu mu Ssaza Busiro lukomekkerezeddwa n’omulanga eri abantu okwemanyiza okwekebeza balabe bwe bayimiridde.

Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba asabye abavunaanyizibwa mu tterekero ly’omusaayi okukomya okutunda omusaayi, kubanga omusaayi tegutundibwa—abantu baguwayo ku bwereere.

Bw’abadde aggalawo olusiisira olwamaze ennaku bbiri ku St. Joseph’s Catholic Parish Kyengera, abantu okuva mu Ssaza Busiro n’ebitundu ebiriraanyewo bafunye obujjanjabi obwo bwereere ku ndwadde ezibaluma.

Abamu ku ba nurse abeewaddeyo nga bawa obujjanjabi mu kiseera ky'enteekateeka y'ebyobulamu eya 'Tubeere Balamu'

Abamu ku ba nurse abeewaddeyo nga bawa obujjanjabi mu kiseera ky'enteekateeka y'ebyobulamu eya 'Tubeere Balamu'

Okulwanyisa obubbi b’eddagala

Jjajja Namwama atabukidde ababulankanya eddagala mu malwaliro ga Gavumenti, nti bakosa bangi era kiviiriddeko abawerako okufiirwa obulamu bwabwe. Akubirizza abantu okukuuma obuyonjo mu maka gaabwe okusobola okukendeeza endwadde ez’ekuusa ku bujama.

Bwanamukulu w’ekigo kino, Musinya Lawrence Kanyike, agambye nti Buganda ekola omulimu munene okukyuusa embeera z’abantu mu Uganda yonna, n’olwekyo abo abagiyuya baba bayuyizaamu obuweereza obugasa eggwanga lyonna.

Omukolo gwetabiddwaako abakungu ab’enjawulo, nga balaga obuwagizi obw’amaanyi eri enteekateeka y’ebyobulamu eya ‘Tubeere Balamu’

Omukolo gwetabiddwaako abakungu ab’enjawulo, nga balaga obuwagizi obw’amaanyi eri enteekateeka y’ebyobulamu eya ‘Tubeere Balamu’

Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala, asabye abantu bakomye okwejjanjaba nga bagula eddagala awatali kugoberera biragiro by’abasawo, kubanga kino kitadde obulamu bw’abantu mu katyabaga olw’obulwadde okukonera mu mubiri.

Olusiisira luno luwagiddwa ebitongole bye by’obulamu eby’enjawulo, bannakyewa, emikutu gy’amawulire n’abantu ssekinnoomu.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK