
Oweek. Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’asoma obubaka bwa Kabaka
Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu Keleziya ya St. Nazareth Kannabulemu ewabadda okusaba okusembayo mu kuwerekera omugenzi.
Obubaka bwa Kabaka mu bujjuvu
Bannaffe twafuna amawulire ag’ennaku ag’okufa kwa mukadde wammwe, Omulangira Paul Mawanda Kyabaggu, kitalo nnyo.Tusaasidde nnyo Nnamwandu, bamulekwa, Abooluganda n’emikwano olw’okuviibwako omukulu oyo.
Mu ngeri ngeri ey’enjawulo tukubagiza Abalangira b’e Ssanje wamu n’abasuubuzi mu Kampala olw’okufiirwa kuno.
Tubeegatako okukungubagira omuntu abadde omuwagizi lukulwe mu nteekateeka z’Obwabakabaka nnyingi era yawagira nnyo enteekateeka z’ekisaakaate kya Nnaabagereka ku ssomero lye.
Twebaza Katonda olw’ebitone eby’enjawulo bye yawa omugenzi nga mwe muli; obukozi, obuyiya n’okuyamba abantu. Abadde munnamakolero mugundiivu era ng’awa abantu bangi emirimu.
Tusaba Mukama amuwe ekiwummulo eky’emirembe.

Omugenzi nga azikibwa
Mu kisaawe ky’ebyenjigiriza ayambye abaana bangi okusoma ne bafuuka ab’omugaso, mu bulamu bwe, abadde omuntu omukakkamu, ow’ekisa era alese omukululo munene mu by’obusuubuzi mu ggwanga lyaffe.