Oweek. Christopher Bwanika ng'annyonnyola obukulu bw'okuyigiriza abaana obuwangwa bwabwe
Oweek Christopher Bwanika okwogera bino abadde mu kusaba kw'okujaguza ssabbiiti yeby'obuwangwa n'ennono okwategekeddwa Ab'Adiventi ku kkanisa ya Mount Olive, Kira Central District, okwakulembeddwamu omusumba Kristo Kiragga.
Oweek Bwanika abalaze obukulu bwokuyigiriza abaana eby'obuwangwa n'ennono gyebava era bakimanye nti obuwangwa ssi sitaani naye byebintu ebitulaga gyetuva kubanga ne Yezu Kristo yalina obuvo n'obuddo.
Omukiise mu Lukiiko lwa Buganda, Oweek Isaac Mpanga, nga yoomu ku babadde emabega w'enteekateeka zino era omusinza ku Mount Olive Church Nnaalya, ategeezezza nti e Kkanisa yayisa ekiteeso ekyokukyaza obwakabaka bwa Buganda okwongera okubuulira ku by'obuwangwa ebitali bimu.
Omusumba Christo Kiragga omu ku bakulembeddemu okutendereza kuno, alina okukkiriza nti obuwangwa bukola kinene nnyo ku nneeyisa n'embeera z'omuntu era kikulu nnyo okubukuuma.