Oweek Katikkiro nga alamusa Richard Todwong ssabawandiisi wa NRM
Ssaabawandiisi w'ekibiina kya NRM, Richard Todwong akyaddeko e Mengo naasisinkana Katikkiro nebabaako bye boogera.
Boogedde ku nsonga ezikwata ku kubangula abavubuka bayige emirimu nga beenyigira mu nteekateeka za Gavumenti, enteekateeka zokukwanyisa obwavu nga tuyita mu mmwanyi terimba, era ayagala Gavumenti ewagire Obwakabaka kubanga kaweefube wokukwanyisa obwavu ayamba abantu bonna awatali kusosola,
Boogedde ku by'obulamu omuli okulwanyisa mukenenya, okugaba omusaayi, okugema covid19, n'ategeeza nti singa bateekawo enteekateeka ezituyamba okukolagana ne Gavumenti mu program zino, omuntu wa bulijjo yasinga okufunamu.
Amusabye atuuse mu bakulu ebirowoozo by'Obwakabaka, kubanga ekibiina ekiri mu Gavumenti kibeera n'enteekateeka ate naffe ng'Obwakabaka zetusaana okwenyigamu abantu naddala aba bulijjo bayambibwe mu kukyuusa embeera zaabwe.
Todwong yeebaziza Katikkiro okumukyaza, n'agamba nti obukulembeze bw'ennono, eddiini, ne Gavumenti ge masiga agatambuzibwako eggwanga, noolwekyo galina okukolagana okusobola okuweereza abantu kyenkanyi.