Omulangira David Kintu Wassajja nga asoma obubaka bwa Ssaabasajja
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye obuweereza bw'Omugenzi Bishop Ssekadde.
Nnyinimu ategeeza nti mu kiseera omugenzi we, yabeerera omulabirizi w'e Namirembe, yakolagananga bulungi n'Obwakabaka wamu ne Nnamulondo.
Era abadde muntu wa kisa, omwetowaze, ng'awa buli muntu ekitiibwa era waakusaalirwa nnyo.
Asaasidde nnyo Nnamwandu Allen Ssekadde, bamulekwa n'olukiiko lw'Abalabirizi olw'okuviibwako omuntu waabwe.
Obubaka bw'Omuteregga busomeddwa Omulangira David Kintu Wasajja mu Lutikko e Namirembe, ewabadde okusabira omwoyo gw'omugenzi.
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda n'oweek Joyce Nabosa ku ddyo
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Abalangira n'Abambejja, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ku lwa Katikkiro, Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, Baminisita ba Kabaka, n'Abaami ba Ssaabasajja ku mitendera egy'enjawulo, bali mu kkanisa e Namirembe okwetaba mu kusabira omugenzi Rev. Bishop Samuel Balagadde Ssekadde, eyaliko omulabirizi w'e Namirembe.