Omulangira Jjunju ng'atongeza Sseetebe wa Kabaka Foundation e Boston mu Amerika
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye Abaganda ababeera emitala w’amayanja wamu n'abo abaagaliza Obuganda ebirungi olw'okuwagiranga enteekateeka z’Obwakabaka, naddala ez'ekitongole kye ekya Kabaka Foundation, ezigendererwamu okutumbuula obulamu bw’abantu ba Buganda ne Bannayuganda bonna okutwaliza awamu.
Obubaka bwa Ssaabasajja busomeddwa Omulangira Jjunju Crispin Kiweewa bw’abadde aggulawo ettabi ly’ekitongole kya Kabaka Foundation mu Ssaza ly’e Massachusetts-Boston, mu ggwanga ly’America ku mukolo ogubadde mu wooteeri ya Crown Plaza esangibwa mu kibuga Woburn mu ssaza lya Ssaabasajja ery’e Massachusetts.
Omulangira Jjunju atongozza mu butongole board ennakulembera ettabi erya Kabaka Foundation mu Ssaza lya Ssabasajja ery'e Massachusetts Boston nga ekulemberwa Omukungu James Sentongo.
Prince Jjunju and Kingdom Leaders in joint photo
Omulangira Jjunju wano era alangiridde enteekateeka ya Ssaabasajja empya ey’okutandikawo essomero ‘Kabaka Foundation Academy’ wansi w’ekitongole ki Kabaka Foundation nga ekiruubirirwa ky’essomero lino kwe kuyamba abaana abatalina mwasirizi okusinga ababeera mu migotteko egiri mu bitundu bye Kampala mu Buganda, nga mu kino baakuweebwa omukisa gw’okusoma ku bwerere.
Akulira Kabaka Foundation, Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala wano alaze obwetaavu n'ennyonta obuli mu nteekateeka eno ey'ebyenjigiriza nga yaakuyamba okusomesa abaana ba Buganda saako bannayuganda ababeera mu bitundu bya Buganda naddala mu migoteko ewali abateesobola yadde nga baaliyagadde okusoma.
Omuk. Kaggwa akubirizza abantu ba Ssaabasajja mu Boston okuwagira enteekateeka eno Ssabasajja mwayise okutumbula eby’enjigiriza.
Abakulembeze mu ttabi lya Kabaka Foundation Boston mu America nga bakulembeddwamu Omuk. James Sentongo bakubye ebirayiro ne beebaza Nnamunswa olw’obwami obubaweereddwa era beeyamye okulwana obwezizingirire okulaba nga enteekateeka ya Ssaabasajja eno ey’okuzza abaana abatalina ayamba mu masomero nga etuukirizibwa.