
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II
Ku Ssande eno, nga 13 Apuli 2025, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agenda kuweza emyaka 70.
Twebaza Katonda olw’obulamu n’obukulembeze bwa Beene.
Akatabo ak’enjawulo okuva mu lupapula lwa Gambuuze kalimu ebyafaayo by’Obwakabaka, nga kakwata ku bulamu n’obukulembeze bwa Kabaka mu lugendo lw’emyaka 70.

Akatabo ak’enjawulo okuva mu lupapula lwa Gambuuze kalambulula olugendo lw’emyaka 70 lwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II
Osobola okufuna kopi ku Bulange e Mengo, ku matundiro g’amawulire ag’enjawulo, oba okutuukiriza mu kuyita ku 0751 546 624.
