Omulangira David Kintu Wasajja eyakiikiridde Ssaabasajja Kabaka
Ssaabasajja Kabaka ayozaayozezza aba Sugar Corporation of Uganda Ltd abali wansi wa Mehta group olw'okuweza emyaka 100 nga baweereza bannayuganda.
Mu bubaka bwatisse Omulangira David Kintu Wasajja ku mukolo gw'okujaguza e Lugazi, Omutanda asiimye Mw. Nanji Kalidas olw'okwolesebwa kweyafuna okutandika e kkolero lino erifuuse ery'omugaso eri eggwanga.
Okwolesebwa kuno kuleeseewo enkulaakulana eya nnamaddala mu bantu be Lugazi ne Uganda okutwaliza awamu.
Omukulembeze w'Eggwanga nga yabadde omugenyi omukulu, yeebazizza aba Mehta olw'obutaggwamu ssuubi olwa Pulezidenti Iddi Amin Dada okugoba abayindi mu Uganda 1972, nebalemerako okutuuka kati bwebatuuse ku buwanguzi mu by'enfuna, era naakinogaanya nti okuddiza abayindi ebizimbe n'amakolero gaabwe kyali kikolwa kya buvunaanyizibwa era nga ky'amakulu kubanga kyali kizibu okusikiriza abasizi b'ensimbi okuva e bunaayira okujja wano nga ate balaba ebintu by'abamu ku ba musiga nsimbi byawambibwa, ekyabaleetera okutya okuleeta wano ensimbi zaabwe okuzisiga mu bintu eby'enjawulo.
Pulezidenti ne Jim Mehta owa Mehta Group mu lukung’aana luno
Jim Mehta, kulwa Mehta group ayise mwebyo Mehta group byezze ekola n'agamba nti bongeddemu tekinologiya abasobozesa okukola ebintu eby'omulembe era eby'omutindo.
Mehta group baddukanya amakolero agawerako okuli, Sugar Corporation of Uganda Ltd erikola sukaali wa Lugazi, Cable corporation Ltd, erikola eby'amasannyalaze, n'eggweserezo ly'amasannyalaze agava mu bikajjo eritongozeddwa olwa leero.
Ekkolero lya sukaali lino lye lyasookera ddala mu Uganda.