Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II
Ssaabasajja Kabaka, okuyita mu kitongole kye Kabaka Foundation, yasiima okwongera okutuusa empeereza z’obujjanjabi eri abantu be mu kaweefube eyatuumibwa Tubeere Balamu.
Bannabuddu mwe mulidde empanga, olw’okuba olusiisira lw’ebyobulamu mu kaweefube ono lutandikira mu ssaza lyammwe ku Mbuga y’Essaza, okutandika ne leero.
Katikkiro, Charles Peter Mayiga, ayongera okutegeeza ebyo ebikwata ku nteekateeka eno.
Ekintu ekisinga obukulu mu nteekateeka eno bwe bulamu bw’abantu.
#TubeereBalamu