Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Oweek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, n'ekibinja e kyava e mbuga okwolekera e Kano, mu Nigeria, okwetaba mu bikujjuko bya "Kano Durbar", olwa leero basisinkanye Emir w'e Kano, His Highness Alhajj Aminu Ado Bayero, mu Lubiri lwe, e Kano, ne bamukwasa obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka, obubadde obw'ekyama.
Oweek. Kaawaase, annyonnyodde Emir, ku ngeri Obwakabaka gye bweyambisa ettuttumu lya Kabaka, okukola emikago egiwagira enteekateeka z'Obwakabaka eziyamba abantu, n'amutonera n'ekirabo ekya Quran.
Emikolo emikulu egy'okuvugira embalaasi mu bibinja by'amasaza, nagyo gikoleddwa olwa leero mu Lubiri lwa Emir, nga buli kibinja bikulemberwamu Omulangira, so nga n'Emir, naye agyetabyemu butereevu, n'avuga embalaasi.
Emir asisinkanye abagenyi be n'ayogerako nabo, omu ku omu, n'oluvannyuma n'abagabula ekyeggulo.