
Dominic Luther Mubiru ng’akutte ebaluwa Kabaka gye yamuwandiikira
Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima
Musaayi muto ow’emyaka etaano, Dominic Luther Mubiru, abadde ne kwegomba okw’enjawulo: yawandiikira Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II e bbaluwa emulaga essanyu n’okumuyozaayoza olw’okutuuka ku mazaalibwa ge ag'e myaka 70.
Dominic yakozesa ssente (e mmese zeyamuwa) olw’okukula erinnyo erisooka n’agula firimbi, nga kigendererwa kye kwabadde kutonera Kabaka agikozese okujjukira abantu be obutabongoota.
Oluvannyuma lw’okugula firimbi, Dominic yatuula n’awandiikira Kabaka e bbaluwa ey’omuyozaayoza, n’agitikka wamu n’ekirabo kye. Obubaka buno bwasanyusa nnyo Kabaka Mutebi, eyamuddamu n’ebaluwa eraga okusiima n’okumweyamirira olw’ekirabo.

Ebbaluwa y’okusiima gye yaweebwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Kabaka yebazizza nnyo abazadde ba Dominic – Kizza Godfrey ne Nakalyango Justine – olw’okumuleetera ekisa n’okumwekuumira bulungi.
Yagasseeko n’okwebaza abasomesa be ku St. Franciscan Angels Day Care and Kindergarten e Kiteezi olw’okumuyigiriza okusoma n’okuwandiika mu ngeri ennungi.

Omuk. D.D. Mukiibi, omuwandiisi wa Kabaka ow'ekyama, ng’akwasiza Dominic ebaluwa okuva ewa Kabaka.
Ebbaluwa ya Kabaka egya mu mukisa yaweerezeddwa Dominic ku mukolo ogwabadde ku Bulange e Mmengo, ng’eyakwasiddwa Omuk. D.D. Mukiibi, omuwandiisi wa Kabaka ow'ekyama.
Mu kiseera kino, Dominic abeera ne jjajjaawe – Oweek. Henry Kanyike ne Mukyala Florence Kanyike e Kiteezi – olw’abazadde be abali ku mirimu gyabwe e bweru wa Uganda.