Zino z’empaka ez’omulundi ogwa 49, nga zaakuzannyibwa mu kisaawe e Wankulukuku wakati w’Enkima n’Engabi Ensamba, mu balenzi ne mu bawala, ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo.
Enteekateeka eno erangiriddwa Minisita w'Olukiiko, Kkabineeti n'Amawulire, Oweek Noah Kiyimba, ku lwa Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo mu Bwakabaka, Oweek.
Henry Sekabembe Kiberu, enkya ya leero mu lukungaana lwa bannamawulire olubadde ku Bulange.
Asabye abazadde okuleeta abaana bawagire ebika byabwe engeri gyebali mu luwummula.
Ssentebe w'Empaka zino, Oweek Haji. Sulaiman Magala, agambye nti enteekateeka zonna ziwedde, nga tiimu zaakuwandiisibwa ku Lwokutaano lwa wiiki eno nga 5.

Ssabasajja Kabaka nga agulawo emipiira gy'ebika egy'omwaka oguwedde.
