Ku lwomukaaga luno nga 24 Ssebaaseka mu kisaawe kya Muteesa II Memorial Stadium e Wankulukuku.
Obubaka buno bwanjuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwabadde atongoza empaka zino ku Bulange.
Mu lukungaana lwe lumu, abavujjirizi ab'enjawulo okuli, Airtel Uganda, Unaids, Plascon Paints, CBS Fm, BBS Terefayina, Centenary Bank, banjudde ettu lyebataddemu mu mpaka z'omwaka guno.
Katikkiro yebazizza abavujjirizi olw'okutegeera obuzito bwa Ssaabasajja Kabaka, n'agamba nti obwakabaka bwebusinga okutegeerwa mu buvanjuba ne masekkati ga Africa, kino kijja kubayamba okulanga ebyamaguzi byabwe eri abo abeegasse ku Bwakabaka.