Ssabasajja nga bamunyonyola engeri omulimu gyegutambulamu
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n'alambula omulimu gw'okuzzaawo amasiro ge Kasubi Kasubi Nabulagala okulaba wegutuuse.
Asiimye ebikolebwa era agambye nti omulimu guwa essuubi era guzzaamu amaanyi.
Kino kyongedde amaanyi mu bakozi abali kumulimu guno, Era basuubiza okumaliriza omulimu guno mu banga eritaliryawala.
Omutanda era alambudde ennyumba Njagala Kasaayi n’enyumba endala eziri mu masiro e Kasubi
Gyebuvuddeko mu mwaka 2023 ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyiizibwa ku by’obuwangwa ekya UNESCO kyalangirira amasiro ge Kasubi negagyibwa ku lukalala lw’ebifo ebiri mu katyabaga munsi yonna, era ng’essaawa yonna gakugyibwako engalo eri abantu bonna okutandika okugalambula.