Bano be ba memba b'olukiiko olukadde
Ssaabasajja Kabaka asiimye okukola enkyukakyuka mu Lukiiko lw’Eddiiro lya Katikkiro. Olukiiko luno lubadde lukoze omulimu munene nnyo mu kugonjoola ensonga z’Ebika mu Bwakabaka bwa Buganda.
Ebika ssiga kkulu nnyo mu buwangwa bwa Buganda, era okugonjoola endoolito mu byo nayo nsonga nkulu nnyo.
Olukiiko lw'Eddiiro lya Katikkiro olukyusiddwa lubadde lukulemberwa Omuk. Joshua Kateregga - Kisekwa, nga kati Omuk. Dr. Robert Ssonko y'alondeddwa okumuddira mu bigere.
Abalondeddwa ku lukiiko oluggya kuliko nabo abaweerezaako ne ku lukadde, era olukiiko luno lukolebwa abantu musanvu era be bano:
Omuk. Dr. Robert Ssonko - Kisekwa
Omuk. Salim Makeera - Omumyuka wa Kisekwa
Omuk. Lubega Ssebende - Omuwandiisi
Omuk. Andrew Kibaya - Mukiise
Omuk. Dan Kyagaba - Mukiise
Omuk. Samuel Walusimbi - Mukiise
Omuk. Jamil Ssewanyana - Mukiise
Ekiwandiiko ekitongole ekikakasa okulondebwa kw'abamemba abapya mu Lukiiko lw’Eddiiro lya Katikkiro
Ekiwandiiko ekikakasa amannya g’abalondeddwa kifulumiziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, era Omwogezi w'Obwakabaka Owek. Kazibwe Israel Kitooke yakisomedde Bannamawulire.