Bino birangiriddwa Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke mu kiwandiiko kyasomedde bannamawulire ku Mmande e Bulange Mmengo.
Okusinziira ku kiwandiiko ekiriko omukono gwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Nnyinimu asiimye abawummudde obuweereza buno era nayozaayoza abafunye obuvunaanyizibwa obuggya era nabaagaliza obuweereza obulungi.
Mu ngeri yeemu Katikkiro Charles Peter Mayiga ayozayozezza Abaami abaweereddwa Obwami era naabaaniriza mu buweereza bwa Ssaabasajja Kabaka naddala mu lugendo lwokuzza Buganda ku ntikko.
Ono annyonnyodde nti obuweereza bwabano butandikiddewo kyokka Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu egenda kukola entegeka mu bwangu okulaba nga bakkalira bulungi mu buvunaanyizibwa buno.