donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Ssaabasajja Kabaka asiimye aba UNESCO olwokukwatizaako Obwakabaka mu kuzzaawo amasiro ge Kasubi

Ssaabasajja Kabaka asiimye aba UNESCO olwokukwatizaako Obwakabaka mu kuzzaawo amasiro ge Kasubi
Image

Ssabasajja asisinkanye abakungu okuva mu UNESCO mu lubiri e Mengo

Bino Ssaabasajja abyogeredde mu Lubiri e Mengo, mu nsisinkano ye ne Ssenkulu wa UNESCO, avunaanyizibwa ku by'obuwangwa n'ebintu eby'enkizo mu nsi yonna, Lazare Eloundou Assomo, n'abakungu abenjawulo okuva mu UNESCO.

Mu bubaka bwe, Ssaabasajja ategeezezza nti;

Musanyufu olwenkolagana ennungi eriwo wakati wa Buganda ne UNESCO, ekiyambye Buganda okwolesa obuwangwa bwayo mu Africa nensi yonna.

"Tukimanyi bulungi nti mu 2001, amasiro ge Kasubi gasuumuusibwa okutuuka ku ddala ly'ekifo ky'obuwangwa eky'obulambuzi ku lukalala lwa UNESCO mu nsi yonna.

Okusumuusibwa kuno kwasikiriza abantu bangi okuva mu nsi yonna okujja okukola okunoonyereza ku Bwakabaka bwa Buganda era nekitumbula amasiro ge Kasubi.

Tussa ekitiibwa mu nkolagana eno, kubanga Buganda etegeerekese mu nsi yonna, era tweyama okunyweza enkolagana yaffe ne UNESCO.

Omuliro ogwayokya amasiro mu 2010, tegwakoma ku kunnyika mitima gy'abantu baffe kyokka, wabula n'ebyenfuna by'abantu abeetoolodde amasiro byakosebwa, kubanga baatundanga ebintu eri abalambuzi.

Newankubadde nga ebiseera ebimu tukolera mu mbeera y'ebyenfuna, n'ebyobufuzi etali nyangu, tufuna ekikubagizo okuva mu buyambi obutuweebwa okuva mu bitongole nga UNESCO ebimanyi obuzito bw'ebyobuwangwa n'ebirungi bye birina.

Nga Buganda, ne mu Africa yonna, tulina okukkiriza nti obuwangwa n'enkulaakulana bitambulira wamu. Okunyigiriza obuwangwa bw'abantu n'ennono zaabwe, kivaamu ebizibu bingi, mu nkolagana y'abantu, n'ebyenfuna, byonna bikosa abantu.

Kino kikontana n'enteekateeka ya Katonda, eyakeera enkya n'atonda abantu, n'abassa mu kitundu ekimu, naye nga balina obuwangwa bwabwe obwawukana ku bw'abalala.

Neebaza aba UNESCO, olwobuwagizi bwe batuwadde nga tukola omulimu gw'okuzzaawo amasiro ge Kasubi, nneebaza Gavumenti ya Japan eyatuwa ebyuma eby'omulembe ebizikiriza omuliro, era nneebaza Gavumenti ya Uganda olw'obuyambi bw'ezze ewaayo mu by'ensimbi n'emubintu ebirala.

Nga neesigama ku songa ezo waggulu, nsaba ab'ekitongole kya UNESCO okwesigama ku byetukoze, amasiro g'e Kasubi gajjibwe ku lukalala lw'ebifo ebiri mu katyabaga, olw'okubanga kati we gatuuse tegakyeraliikiriza, era tuli beetegefu okumaliriza omulimu ogusigaddeyo mu budde".

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK