
Nnaalinnya Sarah Kagere ng’awa obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka mu Busimbi, Ssingo
Yabadde ayogera ku mukolo gw’okujaguza amazaalibwa ge ku lunaku olw’omukaaga, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye okulaba nga abantu be bavaayo okuweebwa obujjanjabi ku bulwadde bw’amaaso, okukeberebwa, n’okuweebwa eddagala wamu ne ggalubindi ku bwereere.
Enteekateeka eno ebadde mu Busimbi, mu Ssingo, gy'egenda era okuwummuzibwa n’okuggulwawo kw’eddwaaliro ly’Obwakabaka erya Muteesa II, olunaku olw’enkya.
Obwakabaka bukolaganye n’eddwaaliro lya Mengo Hospital mu kutuukiriza enteekateeka zino eza nnaku bbiri — leero n’enkya.

Omusawo okuva ku ddwaaliro lya Mengo ng’awa abantu obujjanjabi bw’amaaso ku bwerere mu Ssingo
Obubaka bwa Ssaabasajja busomeddwa Nnaalinnya Sarah Kagere ku mukolo gw’okuggulawo eddwaliro ku Ggombolola ya Busimbi mu Disitulikiti y’e Mityana.
Mu bubaka bwe, Ssaabasajja agambye nti:
"Mbalamusizza mwenna era mbeebaza emirimu gye mukolera Obuganda. Twebaza Katonda olw’emyaka 70 gy’atutuusizzaako.
Bannassingo tubeebaza olw’okuwagira n’okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka.
Obulamu bwammwe kikulu nnyo, era kye twayagala okubusembera mu Busimbi.
Mwegemese, mwekebeze era mwejjanjabisenga bulijjo. Enteekateeka eno tugenda kugikwatako ennyo okulaba nga obuweereza bwe munaafuna mu ddwaaliro buba bwa mutindo."
Ssaabasajja agambye nti abantu basaanidde okuganyulwa mu basawo abatendeke era abeeyambise eddwaliro lino okukuuma obulamu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Nnaalinnya Sarah Kagere nga balaba omwana asooka okujjanjabibwa mu ddwaaliro lya Muteesa II
Omwana Namugwanya Jolyn Robinah, abadde omusosoze mu kufuna obujjanjabi ku ddwaliro lino, afunye ekyokugema ekirwanyisa endwadde ezitawaanya abaana abato.
Yazaalibwa Muky. Jackline Nabaweesi ne Mw. Michael Ssentongo ab’oku kyalo Katakala, mu Munisipaali y’e Mityana.
Ku mukolo guno waabaddewo Katikkiro Charles Peter Mayiga, Nnaalinnya Sarah Kagere, n’abakungu b’Obwakabaka abalala.