donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Ssaabasajja Kabaka alaze abavubuka nga bwebali abasaale mu kukuuma olulimi oluganda

Ssaabasajja Kabaka alaze abavubuka nga bwebali abasaale mu kukuuma olulimi oluganda
Image

Katikkiro, Omulangira Wassajja ne Nalinnya Agness Nabaloga

Bino bibadde mu bubaka Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwatisse Nnaalinnya Lubuga, Agnes Nabaloga, ku mukolo gw'okukuza ennimi ennansi mu nsi yonna wamu n'okujaguza nga bwejiweze emyaka 34 bukya kibiina kya Nkobazambogo kitandikibwawo, era n'okuggulawo e kaddiyizo ery'e byafaayo bya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu ssettendekero wa Makerere University.

Nalinnya Agnes Nabaloga nga asoma obubaka bwa Ssabasajja

Nalinnya Agnes Nabaloga nga asoma obubaka bwa Ssabasajja

Sabassajja ategezeza nti;
‘Twebaza nnyo abo bonna abakoze omulimu ogwettendo okuddaabiriza nokukola ekaddiyizo.
Nga bannanyini buwangwa, twagala okwebaza eggwanga lya Bangladesh eryaleeta ekirowoozo ekyokukuza ennimi ennansi.
Omulamwa gw'omwaka guno, gutulaga nti tuli muntu omu naye ennimi zezaawukana, byetujaguza leero tubitwale ne mu maka gaffe.
Nsanyusa okuwulira nti Nkobazambogo ekoze omulimu munene mu nteekateeka yomukolo guno, okwetabamu kuno naddala abavubuka kabonero akalaga nti ffe kennyini buvunaanyizibwa bwaffe okukuuma n'okutaasa olulimi lwaffe watali kulufeebya.

 Abantu baze mu bungi okwetaba ku bijaguzo bino

Abantu baze mu bungi okwetaba ku bijaguzo bino

Nga tujjukira nga bwejiweze emyaka 34 egya Nkobazambogo, tetusaanye kwerabira ekibiina kyebaddira mu bigere ekya "Baana ba Buganda" kyali kyamaanyi nnyo mu myaka gye 60".

Nnaalinnya Nabaloga awaddeyo ebitabo by'olulimi oluganda eri Makerere University bikozesebwe mu kusomesa abayizi.

Katikkiro abadde awa obubaka bwe ku mukolo gw’olunaku lw’olulimi mu ggwanga ku yunivasite y’e Makerere

Katikkiro abadde awa obubaka bwe ku mukolo gw’olunaku lw’olulimi mu ggwanga ku yunivasite y’e Makerere

Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde Makerere ku mukolo gw'okujaguza olunaku lw'ennimi ennansi, n'ategeeza nti, omuntu bwoyogera olulimi lwategeera obutegeezi kyomugambye kigenda ku mutwe, naye wkyo kyoyogera mu lulimi lwe kimugenda ku mutima, ekitegeeza nti ennimi ennansi kyekimu kwebyo ebifuga ebirwoozo nembeera zaffe ez'emmeeme era kyekimu ku byobugagga ebisinga okuba eby'omuwendo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK