donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Ssaabasajja Kabaka alambudde omwalo gwe Mulungu – asiimye gukulaakulanyizibwe

Ssaabasajja Kabaka alambudde omwalo gwe Mulungu – asiimye gukulaakulanyizibwe
Image

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga yakatuuka e mulungo

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalambula Omwalogwe ogw’e Mulungu ogusangibwa e Munyonyo nga welekedwako Omulangira Richard Ssemakookiro.

Abantu bba Kabaka basanyuse nnyo okumulabakko era bakunganye mu bunji okumwaniriza nga bwe bamuwubira. Kabaka alambudde omwalo gwe Mulungu okulaba ebikolebwayo.

Ssabasajja ku mwalo e Mulungu alambuziddwa Ssejjengo Baker Ssentebe wékibiina ekitaba abavubuka mu Buganda ki Buganda Youth Council era omuweereza mu BLB, Ssalongo James Wamala naye nga muweereza mu Buganda Land Board.

Omutanda asanyukidde okulaba nga abantu abakolerayo batambuza bulungi emirimu gyabwe era neyeebaza Buganda Land Board olwokukirabirira obulungi.

Ssabasajja nga alambula omwalo gwe mulungo ne Prince Richard Ssemakookiro

Ssabasajja nga alambula omwalo gwe mulungo ne Prince Richard Ssemakookiro

Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka zÓkukulaakulanya ekifo kino zitandike, kisobole okuyingiza abagenyi ab’ebiti ebyenjawulo olwo Obwakabaka bukulaakulane.

Asabye obwakabaka okukulaakulanya ekifo kino okwewala bannakigwanyizi abeenoonyeza ebyabwe.

Nyinimu asiimye abavubuka olwomukwano gwebalina eri Obwakabaka naddala mu biseera eby’okusoomoozebwa, era naalagira ebifo nga Mulungu nébirala bikuumibwe butiribiri.

image-1-19-an-2024.jpg

Bamulambuzza n’okumutegeeza enteekateeka z’okukulakulanya ekifo kino

Minister w’amawulire era omwogezi wo’bwakabaka owek Isreal Kazibwe agambye nti kyakukulaakulanyizibwa kiweese obwakabaka ekitiibwa.

Omwogezi wa Buganda Land Board Denis Bugaya, ategeezezza nti omwalo guno ogwe Mulungu gwankizo nnyo eri obwakabaka olw’enteekateeka ezenjawulo ezikolebwawo, omuli empaka z’amaato , Era nategeeza nti tewali mulimu gwonna ogutyoboola ekitiibwa ky’ennyanja gugenda kukolebwawo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK