donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Ssaabasajja Kabaka alagidde abataka abakulu ab'obusolya okulongoosa embuga z'ebika

Ssaabasajja Kabaka alagidde abataka abakulu ab'obusolya okulongoosa embuga z'ebika
Image

Omulagira Kasimu Nakibinge

Ssaabasajja Kabaka alagidde ku kukuuma obutondebwensi

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde Abataka Abakulu Ab’Obusolya okulongoosa Embuga z’Ebika ng’emu ku ngeri y’okukuuma Obutondebwensi. Obubaka buno, abutisse Omulangira Kassim Nakibinge, abusomedde mu musomo gw’Abataka Abakulu Ab’obusolya ogubadde mu Lubiri e Mengo.

Kabaka Mutebi II agamba nti, “Abataka musaanidde okubeera eky’okulabirako eri bazukkulu bammwe n’abantu abalala nga mukuuma obutaka bw’Ebika. Ebiggwa n’ebifo eby’enkizo mu buli Kika biteekeddwa okuteekebwateekebwa obulungi n’okubirwanirira, ng’essira liteekebwa mu kukuuma Obutondebwensi.”

Nnyinimu asiimye enteekateeka y’omusomo guno gw’agambye nti guyamba nnyo okujjukiza abantu obukulu bw’Ennono, Obuwangwa n’Empisa zaabwe ng’Abaganda. Era mu ngeri y’emu asiimye omulamwa gw’omusomo guno okuteeka essira ku kukuuma Obutondebwensi ng’agamba nti ensangi bukoseddwa nnyo.

Ssaabataka mu bubaka bwe era asabye Abataka Abakulu Ab’Obusolya mu okukuuma obutiribiri emigga, ebisenyi, entobazi, ennyanja n’embalama zaayo ebiri mu bifo eby’enjawulo ku ttaka ly’Ebika ebitali bimu.

Image

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo y’akiikiridde Katikkiro ku musomo guno era ono asoomoozezza abantu ku ngeri gye bakwatamu ensonga y’Obutondenwensi ng’agamba nti singa embeera esigala nga bweri, Eggwanga lyolekedde ekiseera ekizibu.

Ategeezeza nti kyenkana buli kyetaago mu bulamu bw’omuntu okuviira ddala ku mukka ogussibwa kyesigamya ku butonde, era nti n’emiziro gy’Abaganda gyonna butonde anti emiziro; bisolo, binyonyo, bimera n’ebirala byonna okubikuuma, kutaasa butondebwensi.

Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi asinzidde mu musomo guno n’avumirira abo abanafuya obuwangwa n’obutondebwensi nga beerimbika mu ddiini, ono agamba nti n’Omubaka Muhammad, yagamba abagoberezi be nti abantu banaafunanga eddagala okuva mu ebyo ebibeetolodde omuli Emiti, emiddo, ebisolo n’ebirala.

Ono bwatyo akubirizza abantu okufaayo okukuuma obutondebwensi, era yebazizza nnyo Abataka Abakulu Ab’Obusolya olw’okutegekanga Omusomo olw’engeri eno.

Abataka abakulu bobusolya wakati ye Omulangira Kasimu Nakibinge n'e minista we by'obuwangwa nenono

Abataka abakulu bobusolya wakati ye Omulangira Kasimu Nakibinge n'e minista we by'obuwangwa nenono

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, agamba nti waliwo abanafuya obuwangwa bwabwe ate ne beefula abaagala ennyo eby’abazungu nga tebewaddeyo kulowooza ku bugagga buli mu buwangwa bwabwe. Alaze obwennyamivu olw’ebibira, entobazi n’ennyanja ebisanyizibwawo, by’agambye nti Obuwangwa bw’Abaganda bwonna mwe bwetoololera.

Nnamwama Mutumba agamba nti omulamwa gw’omwaka guno gwesigamizibwa ku kutaasa obutondebwensi olw’okwagala okunyweza obuwangwa bwa Buganda abantu bongere okubutegeera n’okubweyagaliramu. Bwatyo yeebaziza abazukkulu bonna abeetabye mu musomo guno ogw’omulundi ogw’okutaano, ne yebaza ne Ssaabataka olw’okusiima omusomo gubeere nga mu Lubiri buli mwaka.

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala, asiimye nnyo buli alina ky’akoze omusomo guno okuyimirirawo, era ategeezeza nti Obwakabaka buli mu nteekateeka ey’okulambula obutaka bw’Ebika byonna mu Buganda, n’ekigendererwa eky’okuzza omugundu mu Bika n’okunnyikiza Obuwangwa n’Ennono za Buganda.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK