Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga (owookusatu okuva ku kkono) nga ali mu kifaananyi ekyawamu ne bassentebe b’amasaza, abamyuka baabwe, n’abakulira ebyobulimi oluvannyuma lw’omusomo ku nteekateeka z’enkulaakulana ey’olubeerera
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be okwongera okunnyikiza obulimi, obulunzi, n’okukuuma obutondebwensi nga kye kyakulakulanya Obuganda.
Obubaka buno Kabaka yabutisse Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga mu musomo ogwategekeddwa ku kitebe ky’Ebyobulambuzi mu Buganda e Mengo. Omusomo guno gwetabiddwamu Abaami b’Amasaza, Abamyuka baabwe, n’abalimisa, era gwategekeddwa ekitongole kya Kabaka Foundation ne Heifer International Uganda wansi w’enkola ya Dream Hub Project okutumbula obulamu bw’abantu ba Buganda.
Omutanda ayogedde nti obulimi n’obulunzi birina obuvunaanyizibwa okukulaakulanya Buganda, n’asaba abantu okwongera okukulemberamu n’okulaga ebyokulabirako ebirungi ku ngeri yokutumbula ebyobulamu byabwe.
Kabaka atenderezza ekitongole kya Mott Foundation ne Heifer International Uganda olw’obuvunaanyizibwa bwabwe mu kuvujjirira enteekateeka eno ey’okuzimba eby’obulimi n’obulunzi.
N’asaba Abaami b’Amasaza n’abakungu okulaba nga beeyongera okusomesa abantu ba Buganda ku ngeri z’okutumbula obulamu n’okukuuma obutondebwensi.
Abeetabye mu musomo ogw’enkulaakulana, mwabademu bassentebe b’amasaza, abamyuka baabwe, abakulira ebyobulimi, n’abantu abalala, bakungaanidde mu kifananyi ekyawamu oluvannyuma lw’esomu elyategekeddwa Kabaka Foundation ne Heifer International Uganda
Minisita w’Eby’obulimi, Obwegassi n’Obusuubuzi mu Bwakabaka, Owek. Amis Kakomo, yasabye abantu ba Buganda okujjumbira enteekateeka eno era n’abawa ekyokulabirako ku mmwanyi eky’enkizo mu bulimi obuleetawo enjawulo.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala, agambye nti buli ssaza lirina okugaziwa n’okuzimbirwa ekifo eky’omutindo ekiryetabamu abalimi n’abalunzi basobole okuyiga engeri z’okutumbula emirimu gyabwe.
Ssenkulu wa Heifer International Uganda, William Matovu, ategeezezza nti enteekateeka eno ejja kuyamba bavubuka bangi okutandika emirimu egyandibaggya mu bwavu era n’okubazza mu by’okusimwa.
Omutanda era yategeezezza nti okukola kuno kuyinza okuleeta enkyukakyuka mu Buganda era kisaanidde okukubirizibwa buli muntu nga yeesigama ku ntanda y’Obwakabaka.