
Omulangira David Kintu Wasajja ng’atuusa obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka eri abantu ba Buganda
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda akubirizza abantu be okufaayo ku bulamu bwabwe nga banywerera ku kaweefube wa Tubeere Balamu.
Obubaka buno busomeddwa Omulangira David Kintu Wasajja mu kutongoza olusiisira lw’ebyobulamu Tubeere Balamu Community Outreach mu Ssaza Ssingo, ku kisaawe kye Ssaza e Mityana.
Mu bubaka bwe, Omutanda agambye nti Buganda esigadde eyimirizaawo enteekateeka ez'okutwala obujjanjabi eri abantu baayo:
"Nga Kabaka Foundation bwe yasuubiza, olusiisira luno lukubiddwa mu Ssaza Ssingo ng’emu ku nkola ez'okutuusa obujjanjabi ku bantu baffe mu buli Ssaza ly’Obwakabaka. Twebaza Bannassingo olw’okujjumbira enteekateeka eno gye twatuuma Tubeere Balamu Community Outreach. Mu kiseera kino, Kabaka Foundation yaakatalaaga Amasaza asatu, lye lino lye ly’okusatu."
Abasawo ne bannamikago batenderezeddwa
Omutanda atenderezza abasawo n’amalwaliro agataddewo obudde okukwatira wamu mu kaweefube ono. Era ayanirizza abawagizi ba nteekateeka eno, nga Diamond Trust Bank, I&M Bank, ne Buganda Kombucha.
Yabadde tannamaliriza, naye atenderezza n’abakulembeze b’eddiini ab’avuddeyo okuwagira kaweefube ono.

Abasawo nga bajanjaba abantu ba Kabaka mu lusisira lw’ebyobulamu olwa Tubeere Balamu
Ebizuuliddwa mu kwekenneenya abantu
Ng’enteekateeka eno ekyasitadde, abasawo bazudde ebizibu eby’enjawulo mu bulamu bw’abantu baffe, omuli:
- ✅ Obulwadde bwa Prostate—bungi nnyo mu baami abali wakati w’emyaka 40 n'okudda waggulu.
- ✅ Mukenenya—ebibonerezo biraze nti omuwendo gw’abantu abalina obulwadde buno gweyongedde.
- ✅ Sickle Cell (Nalubiri)—nabwo bweyongedde nnyo mu bantu baffe.
Mu mbeera eno, Omutanda akubirizza abantu be okwekebeza obulamu bwabwe bulijjo era banoonye obujjanjabi bwe baba bafunye obubonero bwonna obulaga nga balina obulwadde.
Okusaba abantu okussa eddembe ku bulamu
"Tukubiriza abantu baffe bonna okunywerera ku mulamwa gwa Tubeere Balamu—babeekebeze, batandike okwejjanjaba era banywerere ku bujanjabi obutuukiridde," Omutanda agambye.
Twebaza Mukwenda, Olukiiko lwa Ssaza, n’Abaami ba Ggombolola olw’okukwatagana ne Kabaka Foundation mu kutegese enteekateeka eno.
Enkya lusisinkana abantu mu Ssaza eddala!
TUBEERE BALAMU!