Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II (Middle)
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akomyewo ku butaka okuva e Namibia gy’abadde okumala ekiseera ng’awummuddeko, nga bwalondoolwa abasawobe ku nsonga z’obulamu bwe.
Omutanda ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Abaana b'Engoma okuli, Omulangira Crispin Jjunju Kiweewa, ne Nnaalinnya Victoria Nkinzi.
Abaana b'Engoma bebaziza abo bonna abababeereddewo mu kiseera Omutanda wabeeredde ebweru w'eggwanga nga afuna obujjanjabi.
Obubaka bwabwe busomeddwa Omulangira Cryspin Jjunju Kiweewa eri bannamawulire nga Ssaabasajja Kabaka kyajje ekomewo mu nsi ye.
Bagambye bwe bati;
Twebaza Katonda olwokugolola omukono gwe oguwonya ku Ssaabasajja naamusobozesa okusuuka ekimala okudda mu Buganda olwa leero.
Twongera okuwonga Ssaabasajja mu mikono gya Katonda ayongere okussuuka nga ali wano mu Buganda.
Omulangira JjUnju nga ayogerako eri banamawulire
Tukimanyi nti abantu ba Buganda, Uganda n'Ensi yonna babadde basabira Ssaabasajja era bamwagaliza obulamu obulungi. Tusiima nnyo essaala zino era Katonda essaala yaziwulidde era azaanukudde.
Twebaza tiimu y'abasawo n'abakozi ababdde bajjanjaba nokulabirira Ssaabasajja emyezi egiyise mu Germany, Switzerland ne Namibia, tusaba Katonda abawe empeera era tubeebaza okuviira ddala ku ntobo y'emitima gyaffe.
Eri Gavumenti n'abantu be Namibia abakyazizza Ssaabasajja ebbanga ery'emyezi esatu egiyise, tubeebaza nnyo nnyini obugeni n'obukuumi obumuweereddwa.
Namibia Nsi nnungi nnyo ewummuza era erimu emikisa eno yensonga lwa Ssaabasajja yasiima gyaba agenda okufuna obujjanjabi wamu nokuwummulako.
Kyannaku nnyo nti abantu abatono abeenoonyeza ebyabwe basasaanya engambo wamu nokukola ebintu ebivvoola n'ebivumaganya ensi ya Namibia.
Ssabasajja nga ayanirizibwa Nalinya Nabaloga
Abantu bano bamenya ennono yaffe ey'obuntubulamu. Ffe nga aboomunju twetondera Gavumenti ya Namibia olw'efujjo abantu bano abatono lyebaakola mu bugenderevu.
Twebaza nnyo Gavumenti ya Uganda naddala Minisitule y'ensonga z'ebweru olwebyo byekoze nga ekolagana wamu ne Gavumenti ya Namibia mu kiseera Ssaabasajja kyabadde mu Namibia.
Twebaza Katikkiro, Baminisita, Abaami n'abaweereza ba Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka olwokutambuza emirimu gy'Obwakabaka nga Ssaabasajja taliiwo.
Mu ngeri ey'enjawulo twebaza abaweereza abadde ne Ssaabasajja ebbanga lyonna lyabadde ebweru w'eggwanga, emirimu gyammwe tugisiimidde ddala.
Ssaabasajja akomyewo mu Buganda naye akyali mu mikono gy'abasawo era akyetaaga obujjanjabi n'okuwummula okutuusa lwanasuukira ddala.
Ffe aba famile tujja kweyongera okuyambako n'okumukwatirako.
Tusaba abantu ba Buganda babeere bagumiikiriza era bongere okussa mu Ssaabasajja ekitiibwa n'okumulekera eddembe lye ery'obuntu mu kiseera kino.