Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga aggulawo omwaka omuggya
Okwogera kwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu Nkuuka nga aggulawo omwaka mu Lubiri:
"Abagenyi mwenna, nsanyuse nnyo okubalaba. Mwebale nnyo okujja. Tubeebaza emirimu gyammwe gyemukola, era tubakulisa okuyita mu mwaka gwetumalako olwa leero.
Tuddamu okwebaza essaala zammwe ezatusabira mu bujjanjabi bwe tweyiseemu. Tubaagaliza omwaka omuggya ogw’emirembe, obulungi, n’obuwanguzi.
Katonda abakuume."
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza Ssaabasajja Kabaka nti essuubi ly’abantu mu Buganda liri mu Nnamulondo era Abantu bwe bakulabako emitima gibadda mu nteeko.
Obubaka buno, Kamalabyonna Mayiga abuweeredde mu Lubiri e Mmengo ku mukolo gw'okumalako omwaka n'okutikkira Omuzira mu Bazira, ng’ono yabeera omuwangizi w’e Ntanda nga byonna bitegekebwa leediyo ya CBS FM.
“Omwaka guno, abantubo bano baamala ebbanga ggwanvu nga bammanja Ssaabasajja. Era mmwe abazze mwesiimye nti Ssaabasajja Ali nammwe.
Ssaabasajja Kabaka nga atuuse mu Lubiri e Mmengo okuggulawo omwaka omuggya 2025
“Ka mbabuulire nti teri muntu ayinza ku kwagala kusinga kitaawo, ffe mu Buganda Kabaka ye kitaffe era yatuwadde obubaka mwabaddemu ennyingo 12 bwe munaazigenderako 2025, mugenda ku mumalako nga muli bawanguzi,” Owek. Mayiga bw’anonyonyodde.
Katikkiro aloopedde Beene enteekateeka z’entanda ya Buganda evuganyiziddwamu abantu abasobye mu 30 abaawano n’emitala w’amawanga, era John Kizito Lukoma ye muzira mu bazira 2024, ow’emitala wa mayanja ye John William Kizito.
Beene asiimye n’awa John Kizito Lukoma ekyapa ky’ettaka, pikipiki kapyata, n’obukadde bwa siringi butaano nga mwebaza olw’okuwangula.