
Hon. Nakate Kikomeko reading His Majesty’s message
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awerereza obubaka eri abayizi abagenda okutuula ebigezo eby’akamalirizo ku mutendera gwa P7 n’abo abawummula siniya ey’okuna, okuyita obulungi.
Obubaka bwa Kabaka buwandiikiddwa ku kaadi ey'agaliza abayizi okuyita obulungi ebibuuzo "Success card" abali ku mutendera ogwa P7 ne siniya ey'okuna.
Ebiri mu bubaka buno bisomeddwa Minisita w'enkulaakulana y'Abantu era avunaanyizibwa ku by'enjigiriza, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, ku mukolo gw'okussaako abayizi emikono n'okusabira abalindirira okutuula ebigezo by'akamalirizo ku Lubiri High School Buloba campus, awakungaanidde amasomero ag'enjawulo okuwonga abayizi eri omutonzi basobole okuyita obulungi ebigezo byabwe.

Abayizi nga basabirwa..
Obubaka bugamba bwe buti;
"Mu ngeri ey'enjawulo, obwakabaka bwa Buganda busoosowaza okuteekateeka omuvubuka okuluubirira okufuna obukugu naddala nga buyita mu by'enjigiriza eby'omutindo ku mitendera egy’enjawulo.
Awo nno tukwagaliza buwanguzi mu bigezo eby'akamalirizo ebikwolekedde byetulowooza nti obyeteekeddeteekedde n'obunyikivu, obumalirivu wamu n'obwerufu".
Omulabirizi we Namirembe omuwummuze, Wilberforce Kityo Luwalira, nga y'akulembeddemu essaala ezikowoola omutonzi, asabye abayizi okusoma ennyo era beebaze bazadde baabwe abakoze ekisoboka okulaba nga basoma nebamalako.