
Omulangira Rev. Daniel Kimbugwe Kajumba ng’akwasizza Joel Martin Kanyeihamba obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka ku kisaawe Entebbe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obukubagiza Enju y’omugenzi Prof. George William Kanyeihamba, eyali munnamateeka omumanyiddwa ennyo mu ggwanga.
Obubaka bwa Beene bwatikkiddwa Omusukkulumu Omulangira Rev. Daniel Kimbugwe Kajumba, era y’abukwasizza eri mulekwa Joel Martin Kanyeihamba ku kisaawe Entebbe.
Maasomoogi ayogedde ku Prof. Kanyeihamba ng’omuntu eyalese omukululo ogusukka, si mu buyigirize bwokka wabula n’okuwangayo obulamu bwe okudduukirira abo abatalina bwogerero. Yali eddoboozi eryatendereza emirembe n’obumu, era byonna byamufuula omu ku bantu abakozesebwa ennyo mu matwale g’ensonga z’eddembe ly’obuntu.
