
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’aweereza obubaka obw’okulaga obusaasizi n’okw’egayirira eri Kamuswaga Apollo Ssansa Kabumbuli II, olw’okufiirwa nnyina omwagalwa, Namasole Lovinsa Mazinga Namatovu.
Obubaka bwa Nnyinimu butwaliddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owekitiibwa Patrick Luwaga Mugumbule, era abututte leero mu mukolo gw’okutereka omugenzi Namasole.