Pikipiki zino zaaguliddwa ku nsimbi ezaava mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno, nga zaakuyamba abaami okutuusa obubaka obulwanyisa mukenenya ku muntu asembayo ku kyalo.
Basoose n’amagombolola 71, era Katikkiro, Oweek. Charles Peter Mayiga, yaazibakwasirizza ku Bulange, olwa leero.
Abatuutidde okutalaaga buli katundu mu bitundu bye batwala, okulaba nga olutalo ku mukenenya luwangulwa omwaka 2030, we gunaatuukira.
Katikkiro yeebazizza abantu bonna abeetaba mu misinde gy’omwaka guno, n’abakubiriza okwongera okwekuuma, ate n’okugoberera ebiragiro by’abasowo, bataase obulamu.