
.Kabaka nga agulawo omwaka 2026.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alabikako mu Nkuuka ya CBS ey’omwaka 2025. Omuteregga atambudde ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Omumbejja Katrina Ssangalyambogo n’Omulangira Richard Ssemakookiro.
Omutanda asiimye n’ayogerako eri Obuganda, nga asoose kwebaza abantu ba Buganda olw’essanyu lye bamulaze mu kumwaniriza e Lubiri e Mmengo. Oluvannyuma yebazizza bonna abawagira Enkuuka ya CBS, n’abakubiriza okwongera okugiwagira wamu n’enteekateeka endala zonna ezikulaakulanya abantu ba Buganda.
“Mbalamusa mwenna. Twebaza abo bonna abawagira Enkuuka ya CBS. Mwongere okuwagira Enkuuka n’enteekateeka endala zonna ezikulaakulanya Obwakabaka. Enteekateeka zino ke kamu ku bubonero obunyweza omutima gwa Buganda ogutafa. Twebaza abategesi, twebaza abamegganyi, tuyozaayoza Omuzira mu Bazira n’abantu bonna abeetabye mu kumeggana omwaka guno,” Kabaka Mutebi II.
Maasomoogi akubirizza Obuganda okukuuma empisa ennono n’olulimi Oluganda, by’agambye nti bizimba obumu n’obugunjufu.
“Omuzungu bwe yajja mu Buganda, yatenderezza nnyo empisa n’ennono zaffe, awamu n’obukulembeze bw’Ebika n’olulimi. Ebyo byonna biraga obugunjufu. Bino tulina okwongera okubikuuma n’okubisomesa abaana baffe, kubanga bye bizimba obumu n’obugunjufu,” Maasomoogi Mutebi II.

.Owek. Katikkiro Charles Peter Mayiga ku kkono, Ssaabasajja Kabaka wakati ne Nnaabagereka ku ddyo.
Beene yakomekkereza obubaka bwe ng’akubirizza abantu ba Buganda okwongera okusigala obumu, okubeera abavumu n’obutaggwamu ssuubi, naddala mu biseera eby’akazigizigi.
“Tuddamu okubakubiriza okusigala nga muli bavumu mu mbeera yonna, n’okujjukira nti okwegatta bwe buwanguzi bwaffe. Temuggwamu ssuubi; akazigizigi ke tulimu kaakano kajja kukyuka singa ffenna tusigala ku mulamwa. Mwebale nnyo, mwebalire ddala,” Kabaka Mutebi II.
Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe asoose kukulisa Beene, abantu b’Embuga n’abantu ba Buganda bonna awatali kusosola, n’asaba Omutonzi okwongera okuwa Ssaabasajja obulamu obulungi.
Katikkiro yaloopedde Kabaka nti abantu ba Buganda bawulize nnyo obubaka obuva e Mbuga.
“Ssaabasajja, Obuganda bw’olaba buwulize gyoli. Mu 2025 bakiraze nga baanukula obubaka bw’obaweereza. Abavubuka bano bonna abali wano tewali n’omu akkiriza kukwatibwa mu bikolwa eby’obukenenya, kuba wakibagaana. Ate bangi bazze ku nnimiro, ne balima emmwaanyi, kubanga bamanyi nti emmwaanyi terimba,” Katikkiro Mayiga.

Kabaka nga akwasa omuwanguzi ekyapa ky’ettaka.
Mu mwaka 2026, Katikkiro akubirizza Obuganda okusigala mu buufu bwa Nnyinimu, nga buli muntu alondoola obubaka bwonna obuva e Mbuga era n’akola ku by’asuubizza.
“Tugenda kutalaaga Obuganda omwaka ogujja (2026) mu kaweefube w’okusitula omutindo mu byonna abantu bye bakola; abalima, abasuubula, abasitula embeera z’amaka, abakozesa eby’obulamu, era nga tulungamya abavubuka n’okwetegereza embeera abantu mwe bali,” Owek. Mayiga.
Enkuuka ya 2025 eyabadde eri ku mulamwa ‘Enkuuka Bwaguuga’ ebaddemu empaka ez’akamalirizo ez’Entanda ya Buganda. Empaka zino zawanguddwa Basajjamivule Yowana, yeddira nkima, okuva mu ssaza Kyaddondo, Kabaka gw’akwasizza ekyapa ky’ettaka nga Omuzira mu Bazira 2025. Ate Busuulwa Joseph yawangula entanda ya Diaspora era n’akwasiddwa ebirabo by’obuwanguzi.
Abayimbi ab’enjawulo babaddewo okusanyusa abantu ba Kabaka abeetabye mu Nkuuka ya 2025, nga mu beetabyeemu mwabadde mulimu Abalangira n’Abambejja, Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna, Abataka Abakulu ab’Obusolya, Bannabyabufuzi, Bannaddiini n’abantu ba Kabaka okuva mu Buganda n’ebweru waayo.