
Ekifanannyi ekyawamu ne katikkiro
Obwakabaka bwa Buganda butetegese olukuŋŋana ne Bannamikago baabwo oluyindidde ku Four Points by Sheraton nga lugendererwamu okukuba ttooci mu bituukiddwako mu nkolagana eziriwo era lutambulidde ku mulamwa “Emikago ku lw’okutumbula embeera z’abantu n’ebyenfuna byabwe
”Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awerezza obubaka mu kitabo, obusomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga eri Bannamikago b’Obwakabaka. Beene asiimye obumalirivu n’okwewaayo abakolagana n’Obwakabaka bwe balaze mu kugatta ettofaali ku nkulaakulana y’abantu be n’okunyweza obuwangwa bwa Buganda.
“Ekiruubirirwa kyaffe eky’okuzza Buganda ku Ntikko tusobola kukituukako ng’abantu baffe bali mu mbeera ennungi nga basobola okutuusibwako obuweereza obw’enkulaakulana n’emikisa egireeta enkulaakulana. Kino tusobola kukituukako nga tulina be tutambula nabo” Kabaka Mutebi II.
Omuteregga agamba nti mu mulembe guno ogw’emikago okugatta ku nkulaakulana, Obwakabaka bwa Buganda bwongera okuteekawo amakubo agasobozesa ebitongole ebirina okwolesebwa kw’okutumbula embeera z’abantu ne gye bawangaalirira.

Obubaka bwa Kabaka.
Ayongeddeko nti emikago Obwakabaka gye bukola gitunuulira okuleetawo enkyukakyuka ey’olubeerera. Omuteregga asiimye Bannamikago b’Obwakabaka n’ategeeza nti waliwo okugenda maaso mu byobulamu, ebyenfuna, obutondebwensi, n’ebirala ebigatta ku miganyulo egigasa abantu bonna.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ku lulwe ategeezeza nti Obwakabaka bwesigama ku buyiiya n’obwerufu okufuna n’okunyweza emikago egigatta ku kumalawo ebisoomoozo eby’enjawulo n’okutumbula ebyenjigiriza, ebyobulamu, ebyenfuna, okutumbula abavubuka, n’ebirala era agamba nti emikago giyambye nnyo Obwakabaka okutuukiriza obuweereza mu bantu.