Oweek Joseph Ssenkusu Balikuddembe
Oweek Joseph Ssenkusu Balikuddembe alangiriddwa kubwa Ssenkulu bwa Buganda Royal Institute of Business and Technical Education.
Azze mu bigere bya Oweek Anthony Wamala, Ssaabasajja gweyasiima abeere Minisita w'Obuwangwa Ennono n'Obulambuzi.
Minisita webyenjigiriza n'Enkulaakulana y'Abantu n'Ensonga za Woofiisi ya Nnabagereka, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko, yamulangiridde akawungeezi ka leero ku Buganda Royal Institute e Kakeeka Mengo.