
Building handed back to Ssingo county chief after government occupation
E kizimbe ekyogerwako kiri Mityana, ku mbuga ye Ssaza Ssingo. Ebbanga ddene kibadde kikozesebwa nga ekakkalabizo ly’Ababaka ba Pulezidenti e Mityana, newankubadde Omukulembeze w’Eggwanga yali yalagira ebitongole bya Gavumenti byamuke mu bizimbe by’Obwakabaka oba basasule obusuulu obw’obupangisa.
Olwaleero, RDC wa Mityana, Mukiibi Joseph, atadde mu nkola ebyakkaanyizibwako mu ndagaano eyakolebwa wakati wa Ssaabasajja Kabaka ne Pulezidenti Museveni okuzza ebintu by’Obwakabaka. Bwatyo n’akwasa Omwami wa Ssaza Ssingo, Mukwenda Oweek. Deogratious Kagimu, ekizimbe kino.

Mukwenda Nga akwasa Omumyuka We E Kizimbe Kya Ssingo
Nga akwasibwa ennyumba eno, Mukwenda Oweek. Deogratious Kagimu asabye Ababaka ba Pulezidenti okutwala eky’okulabirako kino, nabo bakomyewo ettaka n’ebizimbe eri Obwakabaka, kuba bwe bu nannyini byo.
Mukwenda agikwasizza Omumyuka we owokusatu, Mw. Jjumba Stephen, lifuuke ekakkalabizo lye n’ebitongole by’atwala, omuli: obusuubuzi n’obutale, abakadde, eby’obuwangwa n’ennono, obulambuzi, polojekiti n’enkulaakulana.
Wetwogerera bino, ekipande kimaze okusimbibwa, ekiragirira abantu ku buweereza bw’ekakkalabizo lino.
Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka wa Mukwenda asooka, Mw. Tusuubira Moses, n’abakungu abalala.