
RCC Ariho ng’awa Katikkiro ebirabo.
Omumyuka w’Omubaka wa Pulezidenti e Lubaga omuggya, Moses Ariho, akyaddeko embuga okweyanjula eri Katikkiro mu kifo kino ekiggya ekyamuweereddwa.
Obugenyi buno bugendereddwamu okunyweza enkolagana n’Obwakabaka okusobola okutuusa obuweereza obulungi eri abantu be Lubaga.
Katikkiro amulaze ebifo eby’enkizo ebisangibwa mu Lubiri by’asaanye okutunuulira n’eriiso ejjogi kubanga bisobola okuvaako obutabanguko bwe bitakwatibwa bulungi.
Olubiri lw’e Mmengo, Amasiro g’e Kasubi, Bulange, Lutikko ye Lubaga ne Namirembe, wamu n’Ennyanja ya Kabaka, bifo bikulu nnyo mu kitundu kye Lubaga.
Agambye nti eby’okwerinda ebituufu byesigamye ku mpuliziganya n’enkolagana, era kikulu okussaawo empuliziganya n’abantu abakwatibwako okusobozesa ab’ebyokwerinda okufuna amawulire amatuufu.

Katikkiro ng’asibula omugenyiwe.
Mu kiseera ky’okulonda, Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye RCC okukwata obulungi buli ludda oluvuganya mu by’obufuzi okulaba nga wabaawo emirembe mu ggwanga.
Agambye nti “Amaanyi ameemanye gaamala ebita embuga,” era kyandibadde kirungi buli ludda okukolera awamu.
Moses Ariho ategeezezza nti yabadde tasobola kutandika mirimu gye nga tannatambula ku Mbuga kweyanjula.
Yebazizza Katikkiro olw’omulimu gw’akoledde eggwanga — okuteeka essira mu kuyigiriza n’okulwanyisa obwavu okuyita mu kaweefube wa “Mmwanyi Terimba,” ogw’avuddemu ebibala ebirabwako mu maka g’abantu n’ebitundu gye babeera.