Katikkiro Charles Peter Mayiga
Paalamenti y’e Bulaaya eyisizza etteeka erikugira okugula emmwanyi n’ebirime ebirala nga birimiddwa ku ttaka eryaliko ekibira. Etteeka lino ligenda okutandika okukola nga 31.12. 2024.
Etteeka lino lyayisibwa olw'okwagala okukuuma obutondebwensi kubanga ku bbwo kwe tuyimiridde, era bano kye bava tebaagala kutema miti oba ebibira abantu ate ne basimbako emmwanyi oba ekintu ekirala kyonna.
Etteeka lino litukwatako kubanga emmwanyi ze tulima, ebitundu 60/100 mu Uganda ab'e Bulaaya be bazigula.
Kaakati emmwanyi ziyitimusizza obulamu bw'abantu bangi, abaana basoma, abantu bejjanjabya, batandise okusula obulungi kwegamba okubeera n'obulamu obweyagaza, naye bwe banaalekerawo okugula emmwanyi eziva mu Uganda ebbeeyi ejja kugwa, obulamu buddemu bukalube.
N'olwekyo etteeka litwetaaza okumanya nti buli alima emmwanyi tazirima mu ttaka eryaliko ekibira era bajja kuba bagoberera nga beeyambisa ebizungirizi okumanya Ettaka emmwanyi we zaavudde ne bamanya nti ekyo kyali kibira.
Ku mulundi guno, njagala okubuulira abalimi b'emmwanyi mu Buganda ne Uganda nti okuwandiisa abalimi kwe boogerako, ssi kwa kubaggyako misolo, oba okutegeera omuwendo ogw'emmwanyi z'ofuna, nedda, ssi kukaluubiriza oba kulemesa balimi. Okuwandiisa kwe twogerako ku mulundi guno, tuluubirira okulaba nga emmwanyi zaffe tebazigaana kuyingira Bulaaya.
Twaleeta kaweefube wa Mwanyi Terimba olw'okwagala abantu babeeko ke bayingiza babeere n'obulamu obulungi, ffe emmwanyi ssi ffe tuzifunamu, abazirima be bazifunamu, era ffe tubagamba ku ssaawa eno nti okwewandiisa okwogerwako ssi kwa bulabe.

- Katikkiro Charles Peter Mayiga